Amawulire

Abavuganya gavumenti batabukidde Poliisi

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

  Ab’oludda oluvuganya gavumenti bategezezza nga poliisi okukibateekako nga bwebapangisa bamalaaya bagyeyambulire bwekiswaza. Wiiki ewedde aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi y’ategeeza nga abavuganya gavumenti bwebapangisa bamalaaya nebagyeyambulira buli lwevagenda okubakwata. Kino kyaddirira poliisi okukwata Nalongo Hamida nga akasaaniko era n’ategeeza nga […]

Besigye akwatiddwa, kabuyo mu kibuga

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

  Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa. Besigye akwatiddwa ne dereeva we bwebabadde boolekera e Wankulukuku awabadde olukungaana lw’abavuganya ku nongosereza mu mateeka Poliisi ekozesezza eryaanyi okwasa endabirwaamu y’emmotoka ya Besigye ey’emabega olwo n’ekubamu ttiyagaasi nga tennabasikambula mu motoka munda Mu kavuvungano […]

Eyatta omwana olw’okukaaba asibiddwa myaka 32

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwaamu balemezzaayo ekibonerezo eky’emyaka 32 egyaweebwa omusajja eyatta mutabani we ow’emyaka ebiri ng’amulanga kumukaabirira. Abalamuzi bagambye nti buli kimu kiraga nti Charles Sekamatte yatta mutabani we Ronald Kayiwa omulambo gwe n’agusuula mu kasasiro gyegwajjibwa. Abalamuzi abakulembeddwaamu Remmy Kasule ne Faith Mwondha […]

abayizi 5 babafunyisizza embuto

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Abasomesa basatu e Mubende bakwatiddwa poliisi lwa kusobya ku bayizi bataano ne babafunisa embuto ku ssomero lya gavument erya  Kitenga Secondary School. Abakwatiddwa kuliko Joseph Twinomasiko ne Bright Junior  ate omulala ategerekeseko erya John nga bano babadde basomesa ku somero lya Kitenga Secondary School erisangibwa […]

Kaihura atabukidde abasirikale be- mwebaka nnyo

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Ssabapoliisi w’eggwanga  Gen. Kale Kaihura atandise okusisinkana abantu abetoolodde Namugongo mu kwetegekera olunaku lw’abajulizi. Atandikidde Mukono gy’asisinkanidde abatuuze ku ssomero lya Mukono High School. Eno agugumbudde abaserikale be okuba abanafu lubojje nebebaka mu kiro nga n’awamu poliisi ziggalwa Agambye nti bangi bakwatiddwa naddala mu kibuga Kampala n’asaba […]

Akakiiko ku zzaala kazze

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Olukiiko lwabaminisita ba gavumenti bataddewo akakiiko akagenda okwekenenya ekizibu kya zaala , okukozesa ebiragalalagala wamu n’ebikolwa eby’obwenzi ebiwanise amatanga mu ggwanga. Akakiiko kano ak’abantu 8 kaakukulemberwamu minisita w’empisa n’obuntu bulamu  Father Simon Lokodo  nga era kasuubirwa okuleeta ebiteeso ku mateeka agasaana okulwanyisa obwononefu wamu n’okulaba […]

UPC eyongezezzaayo ttabamiruka-tewali ssente

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya kya UPC bongezzaayo  ttabamiruka w’ekibiina kyabwe okutuusa omwezi gw’omusanvu lwabbula lyansimbi. Ttabamiruka abadde owokutuula nga 12 June kati  wakutuula nga 10 July .   Kino kibikuddwa ssenkagale w’ekibiina kino  Dr Olara Otunnu bw’abadde ayogerako eri bannakibiina mu bitundu bya West Nile ku Republican […]

Omubaka Karuhanga bamuwangudde mu kkooti

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Omubaka wa palamenti ow’abavubuka mu bugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga asaanye okwongera okukola enyo oluvanyuma lw’omusango gweyawaaba nga awakanya eky’okulondebwa kwa Steven Kavuma ku bw’omumyuka bwa ssabalamuzi w’eggwanga okumumegga. Kkooti enkulu eragidde Karuhanga asasule ensimbi zonna ezisasanyiziddwa Kavuma nga amutwala mu kkooti ku nsonga ezitaliimu. Omulamuzi  […]

Abavuganya bazze na kapya

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya gavumenti batongozza kawefube omujja ow’okubanja enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda. Kawefube omujja atuumiddwa komya omuzanyi okubeera diifiri era kapiteni nga agendereddwamu kumanyisa bannayuganda nti omukulembeze w’eggwanga nga naye agenda kwesimbawo ku bwapuklezidenti neera ate y’alonda abakulira akakiiko k’ebyokulonda. Kawefube ono akulembeddwamu loodi meeya […]

Abakozi mu gavumenti beetabe mu byobufuzi- NRM

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya NRM baagala ababaka ba palamenti abatalina bibiina bawerebwe. Ekiteeso kino bakiwaddeyo eri akakiiko ka palamenti akakola ku bbago ly’etteeka mu nonngosereza za ssemateeka w’eggwanga.   Nga bakulembeddwamu amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong, bategezezza nga abatalina bibiina bwebanafuya enkola y’ebyobufuzi ey’ebibiina ebingi.   […]