Amawulire

Namugongo akubyeeko- poliisi yeweredde abavuganya

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Poliisi egamba nti egudde mu lukwe lw’abavuganya okutambuza ebigere okutuuka e Namugongo Bano poliisi egamba nti bagenda kugaba bupappula obukunga abantu okusaba ennongosereza mu mateeka Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti kino tekijja kusoboka kubanga mu buli nsonda wajja kubaawo abasirikale […]

Ekikwekweto ku babba amazzi

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Ab’ekitongole ky’amazzi ekya National Water and Sewerage Corporation batongozezza ekikwekweto okukwata abo bonna ababba amazzi. Ekikweketo ekisooka kikoleddwa mu bitundu bye kiwaatule era nga kikutte akulira omuzikiti gwe Kiwaatule ategerekese nga  Abubakar Lugobe. Abalwanyisa omuze guno abakulembeddwaamu Eng. Baker Kansiime bagambye nti omuzikiti guno gubadde […]

Ayokezza mukyala we lwa ssimu

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Omusajja afunye obutakkaanya ne mukyala nga buva ku ssimu asazeewo kumwokya Abbo Isonjo enzalwa ye Congo yakkakanye ku mukyala we Easter Namutebi n’amuyiwako amafuta n’amwokya yenna lwakumusanga na bubaka bw’omukwano ku ssimu ate nga tebuva wuwe. Bano bamaze mu bufumbo bwaabwe emyaka 4 nga amulinamu […]

Omwana agudde mu mata

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Omwana eyagwa mu ntamu y’amata nga  nyina ng’ataasa banne obutatwalibwa mataba asaba buyambi. Gertrude Nambalira ow’emyaka 28 nga mutuuze we Namungona  agamba alina abaana basatu kyokka nga kitaabwe yalwalwa natwalibwa mu kyalo. Mu kiseera kino tebalina buyambi oluvanyuma lw’enkuba eyatonya ku ssande okutwala ebintu byabwe. […]

Amayembe galumbye essomero

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Ab’obuyinza mu gombolola ye Kasambya e Mubende basazeewo okuggala essomero lya gavumenti erya Nakawala Primary School okumala Ssabbiiti namba olw’ebigambibwa okuba ebyokola  okuzingako abayizi ne bibasula eddalu nga n’abamu bafiiriddwa obulamu. Omukulu  w’esomero lino Amiisi Kitunzi ategezezza nga  bwebaawaliriziddwa okugalawo esomero lino okusobola okutaasa obulamu […]

Eyatta bakazi be naye wakuttibwa

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Kkooti ejulirwaamu eremezzaawo akalabba eri omusajja eyatta bakyala be babiri. Abalamuzi abasatu abatuula mu kkooti eno okuli Remmy Kasule, Faith Mwondha ne Richard Buteera bakkiriziganyizza n’okusalawo kw’omulamuzi wa kkooti ye Masaka Vincent Kibuuka Musoke nti omusajja ono asana kuttibwa Abalamuzi bakakasizza nti omwana omuto ow’emyaka […]

Ababaka bagenze mu luwummula

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagenze mu luwummula oluvanyuma lw’okuyisa embalirira y’eggwanga Bano okudda nga betegekera kwogera kwa mukulembeze w’eggwanga okugenda okubaawo ku lw’okuna Amyuka sipiika wa palamenti omukulu Jacob Olanya agambye nti ababaka babawaddemu obudde okuwummula bakomewo ku kwogera kwa pulezidenti nga bali kalaso […]

Rugunda atenderezza Nyerere

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Ssabaminista w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda atenderezza eyali omukulembeze w’eggwang lya Tanzania Julius Nyerere gw’ayogeddeko ng’omusajja enjasa biggu ate omukkakkamu Ng’ayogerera mu missa y’okusabira Nyerere, Dr Rugunda agambye nti Nyerere yakolera nnyo emirembe ate nga yabudamyanga nebannayuganda bangi abayiggibwanga Idi Amin Dada Nyerere yalangirirwa mu lubu […]

Omwana omulala akyusiddwa e Mulago

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Waliwo abafumbo abalala abakubye eddwaliro lye Mulago mu mbuga z’amateeka lwakukyusakyusa mwana waabwe nebabawaamu omulambo gw’omwana omuwala Saudah Nabakiibi ne Farouk Bukenya bagamba nti bazaala omwana waabwe nga 13 July 2006 era ng’eyabazaazisa ye Dr. Asinja  Kapuru. Omukyala ono agamba nti omwana we gweyazaalira ku […]

Uganda erimu effuga bbi- alipoota

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Alipoota efulumiziddwa eraga nti Uganda yeemu ku mawanga agatassa kitiibwa mu mateeka Alipoota eno efulumiziddwa ekibiina kya World Justice Project era nti Uganda ekwata kya 95 ku mawanga 102 agatassa kitiibwa mu mateeka Uganda era ekwata kya 15 ku mawanga 18 agali wansi w’eddungu Sahara […]