Amawulire

Uganda erimu effuga bbi- alipoota

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Opposition leaders arrested

Alipoota efulumiziddwa eraga nti Uganda yeemu ku mawanga agatassa kitiibwa mu mateeka

Alipoota eno efulumiziddwa ekibiina kya World Justice Project era nti Uganda ekwata kya 95 ku mawanga 102 agatassa kitiibwa mu mateeka

Uganda era ekwata kya 15 ku mawanga 18 agali wansi w’eddungu Sahara agatassa kitiibwa mu maka era ekwata kya 12 ku mawanga agalimu bamufuna mpola

Denmark ly’eggwanga erisinga okubaamu okussa ekitiibwa mu mateeka nekuddako Norway ne

Zimbabwe y’esinga okukola obubi mu Africa ate mu nsi yonna ekwata kya kusatu nga Venezuela ne Botswana geegamu ku mawanga agasingamue ffuga bbi

Ebitunuuliddwa mu kunonyereza kuliko okupima obuyinza bwa gavumenti, enguzi, eby’okwerinda, n’okukwasisa amateeka.

Akulira ekibiina ekikoze okunonyereza William H. Neukom agambye nti bakusigala nga bajjukiza gavumenti ez’enjawulo ku kalungi akali mu kussa ekitiibwa mu mateeka