Amawulire

Namugongo akubyeeko- poliisi yeweredde abavuganya

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Namugongo anglican shrine

Poliisi egamba nti egudde mu lukwe lw’abavuganya okutambuza ebigere okutuuka e Namugongo

Bano poliisi egamba nti bagenda kugaba bupappula obukunga abantu okusaba ennongosereza mu mateeka

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti kino tekijja kusoboka kubanga mu buli nsonda wajja kubaawo abasirikale okukuuma emirembe

 

Abalamazi okuva mu mawanga agatali gamu abasoba mu mu 5200 ku luno beebetabye mu mikolo e Namugongo.

Tanzania y’esinzizza abalamazi ng’ebadde n’abantu 1540,nekuddako Kenya 1318, Rwanda y’ezzeeko awo n’abalamazi 639, Congo n’abalamazi 604, Nigeria ne Burundi

Abalamazi abasembyeeyo balabiddwaako nga batuuka ng’abasinga bavudde Wakiso, Mukono, Jinja ne Masaka.

Atwala ekiggwa ky’abakatolika e Namugongo Father Joseph Mukasa Muwonge agamba nti wajja kubaawo okuyimba mmisa mu lulimi oluganda, oluswayiri n’olungereza

Bbo ab’ekitongole ekitumbula eby’obulambuzi ekya Uganda Tourism Board kibaze ku ddimu ly’okussaawo pulojekiti ezinaleetanga ssente mu kujjukira abajulizi.

Emu ku zino kwekussawo ebifo omuyinza okusula abalamaza abava emitala w’amatayanja nga basanyusibwa abantu ba bulijjo ku biggwa by’abajulizi.

Atwala ekitongole kino Stephen Asiimwe agamba nti amaka 47 geegasoose okutunuulirwa mu pulojekiti esooka

Asiimwe agamba nti kino kijja kuyamba engeri bannayuganda gyebabeera mu maka n’obuwangwa bwaabwe