Amawulire
Omulabirizi Makumbi aziikiddwa
Abadde omulabirizi wa kkanisa mu kitundu kya West Buganda aziikiddwa ku lutikko e Kako mu disitulikiti ye Masaka Ssabalabirizi w’ekitundu kye Masaka John Baptist Kaggwa yoomu kubatenderezza omugenzi ng’akoze ennyo ku lw’eddiini n’eggwanga lye Ono era agambye nti omulabirizi Godfrey Makumbi akoze kyamaanyi okugatta abantu […]
Okwebaka obuswa kulungi eri obulamu
Abasawo bakizudde nti omuntu okwebaka nga tayambadde kagoye konna kimuwa otulo otujjude emirembe ate kikendeeza n’endwadde z’ensusu. Bino bizuuliddwa ab’ekibiina ekinonyereza ku bikwatagana n’okwebaka mu amerika ekya National Sleep Foundation Dr Sarah Brewer agamba nti okwebaka obuswa kikuuma omubiri nga tegulina bbugumu olwo omuntu neyebaka […]
Pulezidenti wakwogerako eri eggwanga olwaleero
Palamenti eddamu okutuula olwaleero oluvanyuma lw’oluwummula olw’ennaku 2 nga era ababaka betegese kuwuliriza omukulembeze w’eggwanga byazze nabyo olwaleero. Okwogera kuno kwekukulemberamu okusomwa kw’embalirira y’eggwanga nga era kunokolayo pulojekiti ez’enjawulio ezizze zikolebwa. Mu kwogerakwe eri eggwanga omwaka oguwedde, pulezidenti Museveni y’ategeeza nga gavumenti bw’egenda okuteeka essira […]
Omuliro mu Ghana gusse 70
Mu ggwanga lya Ghana bantu abasoba mu 70 bafiiridde mu muliro ogukutte essundiro ly’amafuta mu kibuga ekikulu Accra. Abasinga bafudde begamye begamye nkuba etonyedde kati ennaku 2 nga era abasinga baasigadde tebalina webegeka luba nga n’amasanyualaze tekuli. Mbeera yakakyankalano mu kibuga nga enguudo ezisinga […]
Mafaabi ayagala bwa ssabawandiisi
Omubaka wa Budadiri Nandala Mafaabi alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo ku bwa ssabawandiisi bw’ekibiina kya FDC. Mafaabi agamba agamba ayagala kwongera mbavu mu kibiina kino naddala mu bukulembeze bw’ekibiina. Mafaabi okwesowolayo kiddiridde ekisanja kya Alice Alaso nga ssabawandiisi w’ekibiina okuggwako oluvanyuma lw’okuwereza ebisanja 2. […]
Besigye ne Lukwago bayimbuddwa
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye ne loodi meeya wa kampala Erias Lukwago beeyimiriddwa ku misango gy’okukuba olukungaana olumenya amateeka. Ababiri babadde balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ye Makindye Miriam Okello era bayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ezitali […]
Omulamazi afudde
Waliwo omulamazi afudde Beatrice Birungi ow’emyaka 45 yoomu kw’abo 20 abazirise olw’ekiziyiro ku biggwa by’abajulizi e Namugongo Birungi yatambudde okuva e Mukono olunaku lwajjo era olwaleero neyetaba mu kusaba. Ab’enganda ze bagamba nti emisa ebadde egenda mu maaso, omukyala ono n’ategeeza nga bw’abadde awulira kamunguluze […]
Omwana abbidde
Omwana ow’ekibiina eky’omukaaga abidde oluvanyuma lw’enkuba eya maanyi etonnye Joshua Esalu ow’emyaka 10 abadde asomera ku ssomero lya Erisha primary Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon Diana Nandawula, agamba nti omwana ono abadde azannya ne banne kyokka n’agezaako okusala omwaaka olwo n’agwa mu mazzi. […]
Ababba taxi babakutte
Poliisi erwanyisa ababbisa emmundu ekutte abantu 20 nga kiteberezebwa nti bano beebabadde banyagulula aba taxi nebatta ne ba dereeva Ekibinja kino amakanda kyagasimba mu kampala, Mukono , gulu n’ebitundu ebirala Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango basobodde okununula taxi 40 era ng’ekikwekweto kyakweyongera
Bbomu esse abaana babiri
Abaana babiri bakubiddwa bbomu nebafiirawo. Bino bibadde ku kyaalo Korama mu disitulikiti ye Katakwi Atwala poliisi mu disitulikiti eno Adrian Kwikiriza agambye nti abaana bano bakutte bomu eno ebadde yatalagga edda nebagizanyisa era nebaluka Kigambibwa okuba nga bbomu eno yasuulibwa ba Arrow boys mu lutalo […]