Amawulire
Besigye ne Lukwago bayimbuddwa
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye ne loodi meeya wa kampala Erias Lukwago beeyimiriddwa ku misango gy’okukuba olukungaana olumenya amateeka.
Ababiri babadde balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ye Makindye Miriam Okello era bayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ezitali zabuliwo.
Ababeyimiridde kuliko omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante, meeya we Kawempe Mubarak Munyagwa ne Kansala we Makindye Allan Sewanyana nga bano balagiddwa okusaula akakadde k’ensimbi kamu ezitali zabuliwo.
Lukwago ,Besigye ne Fred Kato bagulwako emisango gy’okujemera amateeka ku nkugaana.
Oludda oluwaabi lurumiriza nti nga 14th May -15, bano baajemera amateeka ga poliisi nebagenda mu maaso n’okukuba olukungaana wali ku Nsambya Sharing hall.
Kati baakudda mu kkooti nga 6th July 2015 okuwulira omusango gwabwe.