Amawulire

Paapa ajja mu November

Ali Mivule

June 13th, 2015

No comments

Ekelezia Katolika mu ggwanga egambye nti tenafuna kiwandiiko kitongole okuva e Vatican newankubadde ng’emukutu gy’amawulire egyenjawulo  gikakasiza okukyala kwa Paapa mu Uganda ne Central African Republic. Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga agambye nti newankubadde amawulire ga ssanyu naye ekelezia teyinza kumala […]

Pulezidenti Museveni atabuse ku Whatsup

Ali Mivule

June 12th, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni kyaddaaki avuddemu omwaasi ku ky’ayita okukozesa obubi emikutu gya yintaneti. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa akawungeezi ka leero, pulezidenti alayidde okufafaagana n’abo abakyatambuza obulimba naddala nga bakozesa omukutu gwa Whatsup. Ono asonze ku bbaluwa ebadde etambulira ku mukutu gwa Whatsup ng’eraga nti ono aliko ebbaluwa […]

Enyonyi egudde – tewali akoseddwa

Ali Mivule

June 12th, 2015

No comments

Waliwo enyonyi ya Malaysia efunye obuzibu kuyingini n’egwa w’etalina kugwa Enyonyi eno ebadde eyolekera ekibuga kya Malaysia ekikulu Kuala Lumpur. Abasaabaze bonna ebisatu abagibaddeko bavuddemu nga tebatuseeko buzibu

Abagambibwa okuba abatujju bakwatiddwa

Ali Mivule

June 12th, 2015

No comments

Waliwo abagambibwa okuba abatujju bataano abakwatiddwa Bano bajjiddwaako emmundu 17 n’emotoka enzibe 8 Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa omukago gw’abakulira poliisi mu mawanga ga east Africa nga gukolagana n’ogwo ogw’abatwaala poliisi mu mawanga agali mu bukiikaddyo bwa Africa. Atwala poliisi y’ensi yonna mu Uganda Asan […]

Namwandu wa Amin Sarah Amin afudde

Ali Mivule

June 11th, 2015

No comments

Eyali muk’omukulembeze w’eggwanga Idi Amin nga ye Sarah Amin afudde. Ono afiiridde mu kibuga London ekya Bungereza ng’aweza emyaka 60. Mutabani wa Amin Jaffer Amin agambye nti batandise enteekateeka ez’okuza omulambo. Ono agambye nti kitaawe yali ayagala nnyo omukyala ono era nga tebawuukana okutuuka lweyafa […]

Embalirira esomeddwa- emisolo ku mwenge, sigala , embaawo girinnye

Ali Mivule

June 11th, 2015

No comments

Gavumenti eyongezezza emisolo ku bbiya, sigala, ebitamiiza nga wine n’enkagaali, ebikolebwa mu ngano n’ebikolebwa ba mu mbaawo. Okufuna paasipoota kati omuntu yetaaga emitwalo 15 okuva ku mitwalo 12 Abagaala paasipoota eza mangu nga zifuluma mu ssaawa 24, omuntu wakusasula emitwalo 30 Mu kawefube w’okutaasa obutonde […]

Abasuubuzi ku Majestic beekalakasizza

Ali Mivule

June 11th, 2015

No comments

Abasuubuzi ku kizimbe kya Majestic Plaza bali mu kwekalakaasa Bano basazeewo okuggala amaduuka gaabwe nebatuula ebweru Bawakanya ekya landi loodi waabwe Drake Lubega okulinyisa ez’obupangisa n’amasanyalaze Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi bano b’egamba nti babadde batandise okukola effujjo Kati poliisi etegese olukiiko wakati wa […]

Agambibwa okutegulula bbomu eyogedde byewunyisa

Ali Mivule

June 11th, 2015

No comments

Omu ku basajja abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 mu mwaka 2010 amazeeko abantu ebyewungula bw’asobodde okwogera amannya g’abaatega bbomu n’ategeera n’ebifanyi byaabwe nga bimulagiddwa Ono alagiddwa ebifananyi by’emitwe gy’abalumira mwoyo abeesibako bbomu era n’abategeera ng’agamba nti omu bakolagana butereevu naye Idris Nsubuga […]

Bba wa Stecia addiziddwaayo e Luzira

Ali Mivule

June 11th, 2015

No comments

Bba w’omuyimbi Stecia Mayanja addiziddwaayo mu kkomera e Luzira Kino kikoleddwa okuwa oludda oluvuganya obudde okwekebejja empappula z’abajulirwa abaleeteddwa Abbas Mubiru ng’asaba okweyimirirwa Ku bano kuliko Victoria Bukenya omutunzi w’essimu , Andrew Kayonga omutunzi w’emmotoka, ne Godfrey Ssebaggala omusuubuzi ku Mutaasa Kafeero Omulamuzi omukulu owa kkooti […]

Dr. Tamale ayitiddwa ku ttaka lya Kitante

Ali Mivule

June 10th, 2015

No comments

Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala kayisizza ekiragiro ekiyita omusawo omukugu mu nsonga z’abakyala Dr Tamale Ssali. Kiddiridde ono okwepena akakiiko kano omulundi ogw’okubiri okunyonyola engeri gyeyafunamu ettaka erya Kitante pimary school. Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, akulira akakiiko akanonyereza Robert Migadde […]