Amawulire

Ekisiibo ky’abayisiraamu kitandise

Ekisiibo ky’abayisiraamu kitandise

Ali Mivule

June 18th, 2015

No comments

  Olunaku olwaleero lwelunaku olusoose mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadan ogw’ekisiibo eri abayisiraamu. Obukadde n’obukadde bw’abakkiriza okwetoolola ensi yonna lwebatandise okusiiba okuva e mambya lw’esala okutuusa enjuba bw’egwa nga bagoberera enkola ya nabbi Muhammad. Akulira abatabuliki wali ku clock Tower Sheikh Sulaiman Kakeeto wabula alabula […]

Omujulizi aguddemu ekidumusi

Ali Mivule

June 17th, 2015

No comments

Okuwulira omusango gw’abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu mu kibuga kampala kuyimiriziddwa okumala akabanga oluvanyuma lw’omujulizi abadde mu kaguli okufuna embiro n’okutandika okulumwa omutwe Idris Nsubuga nga mujulizi wa kubiri abadde asoyezebwa bibuuzo ab’oludda oluwolereza abatujju Caleb Alaka ekiwalirizza omulamuzi omusango okugwongezaayo okutuuka olunaku lw’enkya Omulamuzi […]

Mbabazi awandikidde Museveni- vvaako mu mirembe

Ali Mivule

June 17th, 2015

No comments

Ebipya byongedde okuzuuka ku nsonga z’eyali ssabaminista w’eggwanga  Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze w’eggwanga Amawulire getufuna galaga nti Mbabazi yasooka kuwandiikira pulezidenti Museveni ng’amusaba ave ku ntebe mu mirembe Mu bbaluwa eno eyawandiikibwa nga 13 omwezi guno, Mbabazi mweyayita okutegeeza Museveni nti bingi ebikoleddwa wansi […]

Abasomesa tebannaba kusasulwa

Ali Mivule

June 17th, 2015

No comments

Abakungu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’abakozi ne KCCA bassiddwa ku nninga okunyonyola lwaki abasomesa mu Kampala tebannafuna musaala gwa mwezi oguwedde Ensonga eno ereeteddwa omubaka we Kalungu mu bugwanjuba Joseph Sewungu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku palamenti Sewungu agamba nti afunye amasimu agawera […]

Aba biroole beediimye

Aba biroole beediimye

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

Abagoba ba biroole abasoba mu 100 beebediimye nebasimba ebimotoka byaabwe ku nsalo ya Uganda ne ne Demokulatiki repabuliki ya Congo oluvanyuma lwa congo okuggala ensalo eno Ba dereeva bano basazeewo okusimba biroole byaabwe nga bikubyeeko ebya maguzi mu kibuga kye Odianyadri mu disitulikiti ye Arua. […]

Kkooti eremezzaawo akalabba eri Morsi

Kkooti eremezzaawo akalabba eri Morsi

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

Kkooti mu ggwanga lya Misiri eremezzaawo ekibonerezo ky’akalabba eri eyali omukulembeze w’eggwanga lno Muhammed Morsi Ono ogwamusinga kulangira amakomera gamenyebwe abasibe nebadduka Ono bamusalira akalabba omwezi oguwedde nga kati ne gyeyajulira ensonga yeemu nga kati ensonga erindiridde mufti kukakasa Abalala abalia okuttibwa kuliko abakulu bwebali […]

Bannayuganda banunuddwa

Bannayuganda banunuddwa

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

Gavumenti ng’eyita mu minisitule ekola ku by’amateeka esobodde okununula bannayuganda bataano abaali baggalirwa mu ggwanga lya Mauritania Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ab’ekibiina kya Justice Law and Order Sector, abataano bano ebibonerezo byaabwe bakubimalayo nga bali wano mu kkomera e Luzira Ekiwandiiko ekibayimbudde kibaddeko n’omukono gw’omukulembeze […]

Abaana abaweza obukadde bubiri bali mu bufumbo

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

Abaana abali mu bukadde bubiri beebakakibwa okufumbirwa nga tebannatuuka buli mwaka mu Uganda. Bino biri mu alipoota ekoleddwa ekibiina kya UNICEF. Alipoota eraga nti Uganda yeemu ku mawanga agalimu abaana abafumbirwa nga bato mu nsi yonna era ng’ekwata kya 15. Kati abaana abaweza ebitundu 46 […]

Abaana bagudde ku kabenje

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

Abaana 24 ku ssomero lya Kigando senior school e Mubende bamenyese amagulu n’emikono motoka mwebabadde batambulira nga bagenda ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’omwana omuddugavu ekika kya FUSO UAQ 010E bw’eremeredde omugoba waayo n’agikuba ekigwo Atwala poliisi ye Kasambya Patrick Nzebikire akakasizza akabenje kano n’ategeeza nga […]

Gavumenti tennamaliriza byonna kujjako TV zitali ku digito

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

Kampuni ya  Signet nga eno y’evunanyizibwa ku ky’okubunyisa enkola ya digito mu ggwanga etagezezza nga bweyetaaga obukadde bwa ddoola 26 okulaba nga babunyisa enkola mu bitundu by’eggwanga byonna. Ebifo 18 ewalina okusinziira okubunyisa enkola eno byebyakakolebwako nga kati ebulayo 10 . Akulira kampuni eno  Sam […]