Amawulire

Gavumenti tennamaliriza byonna kujjako TV zitali ku digito

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

TVs ooff

Kampuni ya  Signet nga eno y’evunanyizibwa ku ky’okubunyisa enkola ya digito mu ggwanga etagezezza nga bweyetaaga obukadde bwa ddoola 26 okulaba nga babunyisa enkola mu bitundu by’eggwanga byonna.

Ebifo 18 ewalina okusinziira okubunyisa enkola eno byebyakakolebwako nga kati ebulayo 10 .

Akulira kampuni eno  Sam Batanda agamba okugyako nga baweereddwa ensimbi zino , tebajja kusobola kubunyisa nkola ya digito kwetolola ggwanga lyonna nga omwezi guno tegunaggwako.

Ebitundu ebitanakolebwako kuliko  Moroto, Kotido, Kitgum, Kasese, Mubende, ne Nakasongola.

Batanda agamba okusesetuka okuva ku nkola ya Analog okudda ku digito kwakutandika olunaku lwenkya okwetolola eggwanga lyonna.