Amawulire

Ababundabunda bayitiridde- Gavumenti

Ali Mivule

June 20th, 2015

No comments

Gavumenti yenyamidde olw’omuwendo gw’ababundabunda ogweyongera buli lunaku Kamisona atwala ensonga z’ababundabunda muu ofiisi ya ssabaminista David Kazungu agambye nti abasinga ku bano bava mu ggwanga lya South Sudan ne Democratic Republic eya Congo. Kazungu agambye nti South Sudan wokka abantu 170,000 beebali mu Uganda n’asaba […]

Aba NRM beekalakasizza

Ali Mivule

June 20th, 2015

No comments

Waliwo abawagizi ba NRM okuva mu bitundu bye Bukedi abasanyalazze emirimu mu kibuga kye Tororo nga bagenda mu maaso n’okwekalakaasa Bano babadde bavumirira eky’eyali ssabaminista Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Bano ababadde bambadde emijoozi gya kyenvu nga baduumira amyuka akulira NRM abakyala Phibby Otaala […]

Paapa wakutuuka wano nga November aggwaako

Ali Mivule

June 20th, 2015

No comments

Ekitebe ekikulu ky’obukatoliki mu kibuga Vatican mu ggwanga lya Italy kikakasizza nga Papa Francis bw’agenda okukyala mu Uganda ne Central African Republic wakati wa 27- 29 omwezi gw’ekkumi n’ogumu. Kino kizze nga wakayita wiiki emu bukya Papa akakasa nga bw’agenda okukyala wano mu Uganda bweyali […]

Abasuubuzi bakaaba

Abasuubuzi bakaaba

Ali Mivule

June 19th, 2015

No comments

y’abakyala ababiri abakubiddwa mu kwegugunga kw’abasuubuzi ba Energy centre yeeralikiriza. Abakoseddwa kuliko Carol Nagawa omutuuze we Kitintale Zone 1 nga ono yakubidwa essasi ly’ekipiira mu kugulu, ate yye Yudaya Nabulime nga mutunzi wa airtime wansi w’ekizimbe  yajjiddwaamu eriiso nga asiiba mu maziga olw’okufuna obulemu nga […]

Abawagizi ba Mbabazi abalala bayimbuddwa

Abawagizi ba Mbabazi abalala bayimbuddwa

Ali Mivule

June 19th, 2015

No comments

Kkooti e Masaka ekkirizza abawagizi b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi Masaka okweyimirirwa Omulamuzi w’eddaala erisooka Ann Komuhangi agambye nti abasatu bano baakubye olukungaana olumenya amateeka Abavunaanibwa kuliko Moses Kasozi, Charles Ssebadawo ne Charles Higiro nga bonna batuuze mu Nyendo, Bano ogubavunaanibwa kutimba bifananyi bya Mbabazi omusnago […]

Sejusa ayimbuddwa

Sejusa ayimbuddwa

Ali Mivule

June 19th, 2015

No comments

Eyali akulira ekitongole kya gavumenti ekikessi Gen David Sejusa kyaddaaki ayimbuddwa Sejusa akwatiddwa enkya ya leero bw’abadde awuubira ku bagoba ba bodaboda ababadde bamwetolodde era n’atwalibwa ku poliisi y’oku luguudo oludda e Jjinja. Ono akwatiddwa okumala essaawa nya n’oluvanyuma nebamuyimbula oluvanyuma lw’okukola sitatimenti Omuduumizi wa […]

Mbabazi waddembe okwebuuza ku bantu- Gavumenti

Mbabazi waddembe okwebuuza ku bantu- Gavumenti

Ali Mivule

June 19th, 2015

No comments

  Ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi agamba eyali ssabaminisita Amama Mbabazi waddembe okwebuuza ku bantu kubanga ssemateeka akikkiriza Kino kizze mga Mbabazi yakafulumya enteekateeka ze ez’okutambula eggwanga lyonna nga yebuuza ku bantu ku nteekateeka ye ey’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Ono era yawandiikidde n’akakiiko akalondesa  kko […]

Bannamateeka bawabudde poliisi ku Mbabazi

Ali Mivule

June 19th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja kya bannamateeka ekisabye poliisi okwewala okukwata abantu abatalina musango. Bano babadde baanukula ku kukwatibwa kw’abawagizi ba Amama Mbabazi. Omu ku bannamateeka bano Severino Twinobusingye agamba nti poliisi esaanye okusooka okwetegereza amateeka nga tennakwata bantu Ono agamba nti abakwatiddwa tebalina musango gwebazizza era tewali […]

Akaveera tekanaba kuddawo- gavumenti

Ali Mivule

June 19th, 2015

No comments

Gavumenti ate yefuludde ku bintu by’akaveera n’eddamu okukawera Minisita akola ku by’amawulire Jim Muhwezi agambye nti tenaba kuzzaawo kaveera Muhwezi agamba nti bakimanyi nti akaveera ka bulabe  kale nga tebasobola kukakkiriza Ono asabye ekitongole ekikola ku by’obutonde bw’ensi ekya NEMA okugenda mu maaso n’okukwata abakozesa […]

Aba FDC batandise okuperereza Besigye

Aba FDC batandise okuperereza Besigye

Ali Mivule

June 19th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja kya bannakibiina kya FDC abatandise okuperereza eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye okukwata bendera y’ekibiina kino mu mwaka 2016 Besigye ayalekulira emirimu gy’ekibiina mu mwaka 2012 enfunda eziwera azze ng’ategeeza nga bw’atajja kwesimbawo okutuuka ng’amateeka g’ebyokulonda gatereezeddwa Banna FDC bano bakulembeddwamu […]