Amawulire
Aba NRM beekalakasizza
Waliwo abawagizi ba NRM okuva mu bitundu bye Bukedi abasanyalazze emirimu mu kibuga kye Tororo nga bagenda mu maaso n’okwekalakaasa
Bano babadde bavumirira eky’eyali ssabaminista Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Bano ababadde bambadde emijoozi gya kyenvu nga baduumira amyuka akulira NRM abakyala Phibby Otaala bagambye nti Mbabazi tasaana kukulembera ggwanga nga pulezidenti Museveni y’alina okwesimbawo ate nga tavuganyiziddwa
Batuuse n’okumulangira okubaamu omutima ogutayagalazia NRM ng’eyagala kulaba ng’ekibiina kigwa
Okwekalakaasa kuno kwetabiddwamau banna NRM okuva e Busia, Tororo, Butaleja, Budaka, Palisa ne Kibuku which form Bukedi region.
Bino bizze nga Mbabazi yakalangirira nti wakusookera Mbale ne Soroti mu kawefube we ow’okwebuuza ku bantu ku nteeekateeka ze ez’okwesimbawo.