Amawulire

Bana bakwatiddwa lwa Mbabazi

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye Masaka eriko abawagizi b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi   bekutte nga bavunanibwa kutimba n’okusasanya ebipande bya Mbabazi . Bano era basangiddwa nga bambadde emijoozi okuli ekifananayi kya Mbabazi nga era bagaba obupapula okuli erinya lye. Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga […]

Aba DP bakulonda pulezidenti omuggya omwezi ogujja

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

  Ab’ekibiina kya DP balangiridde olunaku lw’okutegekerako ttabamiruka omugenda okulondebwa abakulembeze abapya.   Ttabamiruka ono wakuva nga  23 okutuusa nga 26 omwezi ogujja nga era baakulonda ssenkagale w’ekibiina omuggya omumyukawe, ssentebe w’ekibiina mu ggwanga nebassentebe b’ebitundu ebyenjawulo.   Omwogezi wa DP Kenneth Paul Kakande agamba […]

Basatu bakwatiddwa lwa Mbabazi

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

Abantu 3 bakwatiddwa ku byekuusa ku kutimba ebipande okuli ebifananyi  bw’eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi . 2 bakwatiddwa wano mu Kampala sso nga omulala ategerekese nga Robert Kabagambe ’akwatiddwa e Kabale. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga era  ategezezza nga bwebaliko emmotoka […]

Mbabazi okwesimbawo amala kwewandiisa- Ssabawandiisi

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Lumumba Kasule ategezezza nga Mbabazi bw’alina okusoka okwewandiisa nga tannetaba mu kamyufu ka kibiina. Nga ayogerera ku NTV amakya galeero,  Kasule ategezezza nga Mbabazi bw’ali ow’eddembe okuvuganya ku kifo kyonna mu kibiina kasita asooka okwewandiisa nga munnakibiina. Lumumba agamba ekibiina […]

Besigye ayaanirizza Mbabazi

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye  ayanirizza Mbabazi mu lwokaano lw’okwesimbawo ku bwa pulezidenti. Besigye ategezezza nga buli Muntu yenna avaayo ng’ayagala enkyukakyuka bw’asaana okuwagirwa. Ono ajjukizza abantu ebiwandiike mu baibuli, abamu ku basinga okusooka okulumba yesu ate bwebakyuuka nebatandika okubuulira enjiri kale […]

Shaka ayimbuddwa

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

Kyaddaaki kkooti ekkirizza  Robert Shaka okweyimirirwa oluvanyuma lw’ebbanga ku alimanda e Luzira ku musango gy’okuwandiika ebivvoola omukulembeze w’eggwanga ku mutimbagano gwa yintaneti. Shaka alagiddwa asasule obukadde 2 ezabuliwo sso nga abamweyimiridde buli omu abadde wa bukadde 5 ezitali zabuliwo. Wakudda mu kkooti nga  30th June […]

Mwetegereze omwezi- ekisiibo kijja

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

Abayisiraamu basabiddwa okutunula enkaliriza ku mwezi ogusuubirwa okuboneka wiiki eno nga akabonero k’entandikwa y’ekisiibo ky’omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan. Akulira amateeka ga sharia ku kitebe ky’obuyisiramu ekya  Uganda Muslim Supreme Council Sheikh Yahaya Ibrahim Kakungulu agamba okusinga abakkiriza basaanye  kutunula nyo nkaliriza mu kiro ky’olunaku olwokubiri. […]

Aba FDC balayizibwa leero

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

Abakulembeze b’ekibiina kya FDC abajja  basuubirwa okulayizibwa olwaleero ku kitebe ky’ekibiina wali e Najjanankumbi. Bano baalondeddwa wiiki ewedde ku bifo ebyenjawulo. Nandala Mafabi  ye ssabwandiisi w’ekibiina omuggya, Ambasada  Wasswa  Biriggwa ye ssentebe mu ggwanga lyonna , Ingrid Turinawe  wakukunga bannakibiina, Ibrahim semujju Nganda ye mwogezi […]

Mbabazi alangiridde okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama  Amama Mbabazi alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo ku bwapulezidenti  avuganye n’eyali mukamawe pulezidenti Museveni omwaka ogujja. Mu bubaka ku mukutu gwA  youtube, Mbabazi  asabye bannayuganda bonna okuli n’abekibiina kya NRM okumuwagira asiggukulule Museveni. Mbabazi anokoddeyo ebintun 8 by’agenda okuteeka enyo […]

Mafaabi ayeze obululu okufuuka ssabawandiisi

Ali Mivule

June 13th, 2015

No comments

Omubaka wa Budaadiri  mu bugwanjuba  Nathan Nandala Mafabi kati ye Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC omuggya. Mafaabi yalondeddwa mu kiro ekikeezesa olunaku lwalero era ng’afunye obululu 809 ate Kasiano Wandri n’afuna obululu 161 olwo  Nabilah Nagayi Ssempala eyawanduse mu lwokaano n’afunye obululu 9. Wasswa Biriggwa kati ye […]