Amawulire

Aba FDC balayizibwa leero

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

Mafaabi 2 new

Abakulembeze b’ekibiina kya FDC abajja  basuubirwa okulayizibwa olwaleero ku kitebe ky’ekibiina wali e Najjanankumbi.

Bano baalondeddwa wiiki ewedde ku bifo ebyenjawulo.

Nandala Mafabi  ye ssabwandiisi w’ekibiina omuggya, Ambasada  Wasswa  Biriggwa ye ssentebe mu ggwanga lyonna , Ingrid Turinawe  wakukunga bannakibiina, Ibrahim semujju Nganda ye mwogezi , Alice Alaso y’amyuka ssentebe w’ekibiina mu buvanjuba bw’eggwanga n’abalala.