Amawulire

Besigye ayaanirizza Mbabazi

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

bESIGEY SMILES

Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye  ayanirizza Mbabazi mu lwokaano lw’okwesimbawo ku bwa pulezidenti.

Besigye ategezezza nga buli Muntu yenna avaayo ng’ayagala enkyukakyuka bw’asaana okuwagirwa.

Ono ajjukizza abantu ebiwandiike mu baibuli, abamu ku basinga okusooka okulumba yesu ate bwebakyuuka nebatandika okubuulira enjiri kale nga Besigye agamba nti ne Mbabazi agambye nti asobola okukyuuka

Azzeemu okujjukiza abantu ku bwetaavu bw’obumu okulaba nti pulezidenti Museveni asigukululwa