Amawulire

Omubaka Kyamadidi bamuteeredde enjuki

Ali Mivule

June 5th, 2015

No comments

Omubaka we Rwampara mu lukiiko olukulu olw’eggwanga Vincent Mujuni Kyamadiidi akiguddeko, bw’alumbiddwa ekibinja ky’abantu b’agamba okuba abamulwana. Kyamadiidi alumbiddwa bw’abadde asisinkanye abakulembeze mu gombolola Mwizi okubabangula ku nteekateeka za NRM okuwandiisa ba memba baabwe okugenda mu maaso. Abalumbye Kyamadiidi babadde n’ensawo y’enjuki era olutuuse mu […]

Pulezidenti aveeko ng’okulonda tekunnatuuka

Ali Mivule

June 5th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya national alliance for change bagaala wasiibweewo gavumenti y’ekiseera enategeka okulonda okutaliimu kyekubiira Nga bawaayo ebirowooozo byaabwe eri akakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka , akulira ekibiina kino Sam Lubega Makaku agambye nti pulezidenti Museveni alina okuva mu ntebe okusobozesa okutegeka okulonda okubaawo nga […]

Ba dereeva ba taxi balangiridde akeedimo

Ali Mivule

June 5th, 2015

No comments

Ba dereeva ba taxi wansi w’ekibiina kya Uganda Drivers Cyclist and Allied workers balangiridde nga bwebagenda okussa wansi ebikola ku lunaku lwa bbalaza lwa poliisi gyebagamba nti esusse okubatulugunya Ssentebe w’omukago gw’abakozi omuli ba dereeva bano Wilson Owere agamba nti okwekalakaasa kuno ba dereeva mwebagenda […]

Ekijjukizo ku bafiira mu lutalo e Luweero bakujjukirwa

Ali Mivule

June 5th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agenda kutongoza ekijukiro ekirala, okujukira abantu abafiira mu lutalo lwe Luweero. Kino kyakusimbibwa ku lunaku olw’okubiri nga uganda egyukira olunaku lw’abazira. Bwabadde ayogera eri banamawulire omwogezi wa government Ofwono Opondo agambye nti ekijukiro kino kyakusimbibwa mu kitebe kye Gombolola ye  […]

Kamera mu bibuga zijja

Ali Mivule

June 4th, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni asuubizza nga gavumenti bw’egenda okutandika okukozesa tekinologiya w’omulembe okulwanyisa obuzzi bw’emisango Ng’ayogerako eri eggwanga, Pulezidenti agambye nti bagenda kussa kamera ku nguudo z’omu kibuga okwetoloola eggwanga lyonna okusobola okulondoola abazza emisango. Ono era atenderezza aba poliisi olw’okukuuma emirembe ku mikolo gy’abajulizi egyakaggwa Ku […]

Ogwa munnamawulire tegugenze mu maaso

Ali Mivule

June 4th, 2015

No comments

Okuwulira omusango okuvunaanibwa omupoliisi eyakuba munnamawulire tekugenze mu maaso Kiddiridde omusawo wa poliisi eyekebejja munnamwulire Andrew Lwanga obutalabikako mu kkooti nga tawadde na nsonga Joram Mwesigye agambibwa kukuba munnamawulire Lwanga n’amumenya ekizi ng’agenda mu maaso n’okukola emirimu gye Omulamuzi wa kkooti eya Buganda Road Ssanyu […]

Enkuba ebagoyezza

Ali Mivule

June 4th, 2015

No comments

Abasuubuzi neba kasitoma baabwe basigadde bakonkomalidde oluvanyuma lw’enkuba etonnya ku makya ga leero okutwaala emmali yaabwe Emidaala egyakazimbibwa ku luguudo lwa kafumbe Mukasa giyiise wakati mu mataba agayiseewo butereevu okutuuka mu maduuka g’abasuubuzi Bbo nno abasuubuzi omusango bagusalidde KCCA gyebagamba nti ekyalemereddwa okugogola emyaala Mu […]

Agambibwa okutta omusirikale agaanye okunyega

Ali Mivule

June 4th, 2015

No comments

Omusajja agambibwa okutta omusirikale mu kwekalakaasa okwaali mu kibuga emyaka esatu emabega asazeewo butanyega kagambo mu kkooti Edson Wako ng’ayita mu munnamateeka we Ssali Ssenkeezi agambye nti asazeewo okusirika Wako avunaanibwa kutta John Michael Ariong ng’ono yakubwa jjinja nga poliisi yezooba n’abantu abaali beekalakaasa mu […]

Amasanga gakwatiddwa

Ali Mivule

June 4th, 2015

No comments

Poliisi ku kisaawe Entebbe ekutte amasanga agaweza kilo 740 nga gabadde gakukusibwa okutuuka mu ggwanga lya Singapore Amasanga gano agabalirirwaano obuwumbi butaano nekitundu gawandiisibwa mu mannya ga munnayuganda akyayiggibwa Atwala poliisi ku kisaawe Entebbe Lodovick Awita agambye nti amasanga gano gabadde malambe nga kiraga nti […]

Bantariza azzeemu okulondebwa

Ali Mivule

June 4th, 2015

No comments

  Pulezidenti Museveni azzeemu okulonda Col. Shaban Bantariza ng’omumyuka w’ekitebe ky’ebyamawulire ekya gavumenti ekya Media center Kino kikakasiddwa omwogezi wa gavumenti era nga yoomu y’atwala ekitebe kino Ofwono Opondo Bantariza yasooka okulondebwa mu mwaka gwa 2013 kyokka n’akwatibwa nga yakakolako emyezi ena era okuva olwo […]