Amawulire

Poliisi y’ebibira akubye omuntu essasi, esengudde abalala

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

    Poliisi mu disitulikiti ye Mpigi eriko abakungu b’ekitongole ky’ebyebira 4 bekutte lwakumala gawandagaza masasi nebalumya omutuuze omu. Okusinziira ku kunonyereza kwa poliisi okwasoose, abakwata bano baayimirizza biloole 2 byababadde batebereza okwetikka ebikondo n’enku okuva mu bibira ebyaganibwa okutemwamu emiti. Wabula biloole bino byagaanye […]

Abenganda ba Makumbi bakunganidde e Mulago

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Ab’enganda n’emikwano z’omulabirizi w’obulabirizi wa West Buganda the Right Rev. Godfrey Makumbi eyafudde mu kiro ekikeesezza olwaleero bakunganiddde ku ddwaliro ekkulu e Mulago. Makumbi y’afudde ekirwadde kya kookolo mu ddwaliro ly’aba kookolo ku myaka 52. Abamu ku bagenze ku ddwaliro lino kuliko mutabaniwe  Edwin Mugambe […]

Namugongo awuuma

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Poliisi efulumizza amateeka agalina okugobererwa abagenda okulamaga ku kiggwa ky’abajulizi enamugongo ku lwokusatu lwa wiiki eno. Emmotoka ssizakukkirizibwa kutuuka ku biggwa byonna  okugyako ez’abakungu ezinaaba zitimbiddwako sitiika . Abakungu abagenda ku kiggwa ky’abakatuliki baakuyita Kyaliwajjala  basimbe ku kisaawe ky’essomero ssomero lya  Namugongo Primary School  sso […]

Okulonda kwongezebweeyo mu Burundi

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Abakulembeze okuva mu mawanga ga East Africa bazzemu okusaba omukulembeze w’eggwanga lya Burundi ayongezeeyo okulonda kw’omwezi guno. Bano era basabye effujjo likome nga lyava ku pulezidenti Pierre Nkurunziza okwagala okwesimbawo ku kisanja ekyokusatu. Okusaba kuno abakulembeze bakiyisizza mu kiwandiiko kyebafulumizza mu lukungaana lw’omukago gw’amawanga ga […]

Bana bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Abantu 4 bafiiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Masaka nga n’abalala baddusiddwa mu ddwaliro ly’e Masaka nga bali bubi. Akabenje kano kaguddewo mu kiro  ekikeesezza olwaleero nga era abagenzi bategerekese nga Abdukarimu Mbogga omutuuze w Bukomansimbi, Pauline Kabazoba, James Katabazi nga owokuna tanategerekeka. Akabenje kano […]

Omusumba Makumbi afudde

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Omulabirizi w’obulabirizi bwa West Buganda  Right Reverend Makumbi Godfrey afudde. Bishop Makumbi afudde mu kiro ekikeesezza olwaleero mu ddwaliro ekkulu e Mulago gy’abadde ajanjabibwa ekirwadde kya kookolo. Eyali ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda  Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo omugenzi amujukira nga omuweereza wa Katonda abadde omukozi enyo .

Embalirira eyisiddwa

Ali Mivule

May 30th, 2015

No comments

Palamenti eyisizza embalirira y’omwaka 2015/16 nga ya busiriivu 24. Wabula embalirira eyisiddwa esinga ku nsawo y’eggwanga era ng’ebituli birinnye okutuuka mu bitundu 13 n’obutundu musanvu ku kikumi mu mwaka ogujja okuva ku bitundu 5 ,’obutundutundu mukaaga mu mwaka gwetukuba emabega Minisita akola ku byensimbi Matia […]

Kabaka awabudde ku kulonda

Ali Mivule

May 30th, 2015

No comments

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri asabye  abavunanyizibwa ku kuteekateeka okulonda kwa 2016, okuwuliriza wamu n’okuteeka mu nkola ebirowoozo by’abantu. Omutanda okwogera bino abadde ku mbuga y’essaza lye Kyaggwe  bw’abadde atongoza olunaku lwa  gavumenti ez’ebitundu. Omutanda agambye nti abantu ba Buganda balina okwenyigira […]

BBomu esse bana

Ali Mivule

May 30th, 2015

No comments

Bbomu ebalukidde wabweru w’omuzikiti gw’aba Shia mu ggwanga lya Saudi Arabia esse abantu bana Abakulu mu ggwanga lino bagamba nti waliwo omulumira mwoyo eyabalulidde mu motoka mu kibuag Dammam Ab’ekibinja kya Islamic State beewaanye okukola obulumbaganyi buno.

Okulunda embizzi- abalunzi babanguddwa

Ali Mivule

May 30th, 2015

No comments

Omusomo ku kulunda embizzi ogwategekeddwa Monitor publications e Matugga gukyagenda mu maaso ng’abalimu abatali bamu bagamba byebayize nfofoolo Akulira Monitor publications Tonny Glen cross agambye obulimi bukyuuse ennaku zino ng’abalimi balina okusoma ennyo Ono agamba nti buli mulimi lw’amanya eky’okukola aba atutumuka kubanga aba afunamu […]