Amawulire

Okulonda kwongezebweeyo mu Burundi

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Burundi hunk

Abakulembeze okuva mu mawanga ga East Africa bazzemu okusaba omukulembeze w’eggwanga lya Burundi ayongezeeyo okulonda kw’omwezi guno.

Bano era basabye effujjo likome nga lyava ku pulezidenti Pierre Nkurunziza okwagala okwesimbawo ku kisanja ekyokusatu.

Okusaba kuno abakulembeze bakiyisizza mu kiwandiiko kyebafulumizza mu lukungaana lw’omukago gw’amawanga ga East Africa mu ggwanga lya Tanzania.

Oluvanyuma lw’olukwe lw’okuvunika gavumenti ya Pierre Nkurunziza okugwa obutaka mu mwezi gwokutaano, banansi b’eggwanga lya Burundi abasoba eyo mu mitwalo 9 baabulidde dda eggwanga lino okwetegula ekibambulira.