Amawulire

Embalirira eyisiddwa

Ali Mivule

May 30th, 2015

No comments

Parliament in session

Palamenti eyisizza embalirira y’omwaka 2015/16 nga ya busiriivu 24.

Wabula embalirira eyisiddwa esinga ku nsawo y’eggwanga era ng’ebituli birinnye okutuuka mu bitundu 13 n’obutundu musanvu ku kikumi mu mwaka ogujja okuva ku bitundu 5 ,’obutundutundu mukaaga mu mwaka gwetukuba emabega

Minisita akola ku byensimbi Matia Kasaija agambye nti gavumenti erina okukola kyonna ekisoboka okunoonya amakubo omuva ensimbi okuva wano ku butaka n’okwewolako ebweru w’eggwanga okusobola okutuukiriza ebiruubirwa mu mbalirira

Mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja, ekitongole ekiwooza kisuubirwa okukungaanya obusiriivu 12 era nga zino zakukola ku bitundu 86 ku kikumi ez’embalirira

Ensimbi ezisigadde zisuubirwa okuva mu nkyukakyuuka eziyinza okukolebwa ng’omwaka gugenda mu maaso n’okwewola

Minisita Kasaija era ategeezezza nga gavumenti bw’erina enteekateeka ezewola obusiriivu 4 okuva mu banka y’aba china okukola ku nguudo.

Embalirira eno egenda kutambulira ku mulamwa ogw’okunyweeza okusiga ensimbi, okutereeza empereeza y’emirimu n’okulongoosa ebintu ebitali bimu ng’enguudo

@@@@@@@@@@@@

Wabula yye akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu agamba nti engeri embalirira yonna gy’ekwatiddwaamu ya kavuyo kereere

Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okuyisibwa kw’embalirira, Wafula agambye nti kino kivudde ku nkyukakyuka ezakolebwa mu ba minisita nga minista aliwo mupya

Wafula agambye nti n’ebbago eryogera ku mbalirira okwekennenyezebwa nga tennayisibwa nalyo teryatunulwaamu olw’akavuyo akaaliwo

Wabula yye amyuka sipiika Jacob Oulanyah awakanyizza Wafula ng’agamba nti buli kimu ekibaweddewo kukoleddwa nga buli mubaka waali yadde nga naye akkiriza nti kuluno akavuyo kabaddi kangi.