Amawulire
Obuwumbi obulala 50 mu kulonda
Akakiiko k’ebyokulonda kafunye obuwumbi 50 okuyamba okuziba eddibu lya ssente eribaddewo mu kuddukanya emirimu mu kwetegekera okulonda kwa 2016. Omuwandiisi w’akakiiko kano Sam Rwakojo ategezezza nga bweabafunye ssente zino oluvanyuma lw’ensisinkano n’abakungu okuva mu minisitule y’ebyensimbi. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda gyebuvuddeko y’ategeeza ababaka ba palamenti nga […]
abalamazi bakyatambula
Abakulisitu wano mu Kampala bakyasaba essaala nga bwebatambulira mu kkubo omwayita abajulizi nga bagenda okutibwa ssekabaka Mwanga mu kyaasa ekya 19. Olunaku olw’eggulo bano baatambudde okuva e Munyonyo ewatibwa Andrew Kaggwa ne Donozio Ssebugwawo , nebagenda e Kyamula ewatibwa Kyamula ne Ponsiano Ngondwe nebagenda mu […]
Tumukunde ayimiriziddwa
KKooti eyisizza ekiragiro ekigaana munnamaggye Brig Henry Tumukunde okusengula abantu ku ttaka lya Jomayi eriweza yiika 200. Ettaka lino liriko ebyaalo nga Njagi , ne Bujuuko ku luguudo lwe Mityana. Amyuka omuwandiisi wa kkooti Thaddeus Opeseni agambye nti waliwo ebitategerekeka wakati w’endagaano eyakolebwa jomayi ne […]
Agambibwa okutta Kagezi akwatiddwa
Poliisi e Kasese ekutte omusajja agambibwa okukulemberamu okutta eyali amyuka ssabawaabi wa gavumenti Joan Kagezi. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono ng’agamba nti bamuyooleddwa mu bikwekweto byebakola okufuuza obuzzi bw’emisango. Enanga agambye nti omusajja ono gwebatayagala kwatuukiriza mannya bazze bamugoberera […]
Omuvubuka asse kitaawe
Abatuuze mu zooni ye Kisugu central wano e Namuwongo baguddemu entiisa omuvubuka bw’akkakkanye ku kitaawe n’amutemateema okukkakkana ng’amusse. Omuvubuka ono ategerekeseeko erya Kazungu kigambibwa nti akkakkanye ku kitaawe James Kizza namutta ng’abadde ayagala okumubbako ssente eziweza akakadde kamu mu emitwalo nsanvu Kigambibwa nti ensimbi zino […]
Bonna balina okufuna ekisonyiwo
Ekitongole ekigabi ky’ekisonyiwo kitandise okukunganya ebikwata ku baali abayeekera abebbirira nebadda mu ggwanga nga tebanaweebwa satifikeeti za kisonyiwo. Kamissiona w’ekitongole kino Msgr Thomas Kisembo ategezezza nga bwebagenda okuwandiisa abo bonna abakomawo mu ggwanga nebetabika mu balala nga tebafunye lukusa. Kisembp agamba abagenda okuganyulwa mu nteekateeka […]
Abakukusa bakyusizza enkuba
Poliisi eyanise enkubya empya abakukusa gyebazze nayo. oluvanyuma lw’okubatayiza wano mu ggwanga bano kati bakozesa ggwanga lya Kenya nga era kati buli lunaku bannayuganda kumpi 10 bakukusibwa nga babayisa eyo. Omukwanaganya w’akakiiko akateekebwawo okulwanyisa okukukusa abantu mu minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga Moses Binoga agamba […]
Abakulisitu batandise okutambula
Enkumi n’enkumi z’abakulisitu wano mu Kampala baakutambula nga bagoberera ekkubo eryayitibwamu abajulizi nga bagenda okutibwa ku biragiro bya ssekabaka Mwanga. Bano baakutandikira Munyonyo ewatibwa Andrew Kaggwa ne Donozio Ssebugwawo olwo beyongereyo e Kyamula nga wano posiano Ngondwe weyatibwe ,boolekere mu katale ka St Balikudembe […]
Omukazi bamutemyeeko omukono
E soroti omukazi bamutemyeko omukono oluvanyuma lw’abasawo abekikwangala okumukuba eddagala effu n’asanyalala omukono . Janet Aliano owo kukyalo Arusi nga aeza emyaka 54 y’agenda mu ddwaliro mu katawuni ke Takum okumujanjaba omusajja gw’ensiri, omusawo eyali mu kalwaliro Justine Elangota n’amukuba empiso ku Mukono okuva olwo […]