Amawulire

Abakulisitu batandise okutambula

Ali Mivule

May 27th, 2015

No comments

Enkumi n’enkumi z’abakulisitu  wano mu Kampala baakutambula  nga bagoberera ekkubo eryayitibwamu abajulizi nga bagenda okutibwa ku biragiro bya ssekabaka Mwanga.

 

Bano baakutandikira Munyonyo ewatibwa  Andrew Kaggwa ne  Donozio Ssebugwawo olwo beyongereyo e  Kyamula nga wano  posiano Ngondwe weyatibwe ,boolekere mu katale ka  St Balikudembe  ewatibwa Balikuddembe bakomekereze ku kanisa ya  St Matia Mulumba ku Old Kampala ewatibwa Matia Mulumba was killed.

Akulira akigo ky’e Namugongo  Father Joseph Mukasa Muwonge agamba nti baakukomekereza olugendo luno olunaku lw’enkya okuva ku Old Kampala okudda e Namugongo nga era baakubeera n’ekitambiro ky’emisa.