Amawulire

Abasomesa beediimye- teri kusomesa- abayizi bazannya

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Akediimo k’abasomesa kasanyalazza ebyensoma naddala wano mu kampala. Abayizi bali wabweru bakonkomadde nebyabatumwa nga olusoma luggulawo awatali basomesa babafaako. Ebibiina ebisinga bikalu nga era n’abasomea abamu bakyali mu mayumba gaabwe  ebyokusomesa  ssibyebaliko. Omusasi waffe Herbert Zziwa atuuseko mu massomero ag’enjawulo okuli Old Kampala Primary school, […]

Abasomesa baweze- teri kudda mu bibiina

Ali Mivule

May 16th, 2015

No comments

Abasomesa baweze obutalinya mu bibiina newankubadde nga minisitule y’ebyenjigiriza ebalagidde beyanjula mu bibiina ku balaza ya weeki ejja awatali kwekwesa nsonga yonna. Abasomesa ne minisitule y’ebyenjigiriza basika omuguwa ku misaala gyebagaala gyongezebwe n’ebitundu 10 ku kikumi kko n’ensimbi zaabwe ez’okwekulakulanya ezabaweebwa pulezidenti Museveni. Ssentebe w’ekibiina […]

SSabassajja agenda Kyaggwe

Ali Mivule

May 16th, 2015

No comments

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 2 wakulabikako eri obuganda ng’ennaku z’omwezi 30 ku nkomerero y’omwezi guno mu Ssaza lye Kyaggwe. Ssabasajja agenda  kutongoza olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu, olugenda okutandika okukuzibwa buli mwaka. Essaza lye Kyaggwe lyeryasinga okukola obulungi mu masaza gonna omutanda n’asiima litegeke emikolo. […]

Namwandu wa Samson Kisekka afudde

Ali Mivule

May 16th, 2015

No comments

Namwandu w’eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Samson Kisekka afudde Mary Nanfuka Kisekka afiiridde mu ddwlairo e Nsambya enkya ya leero Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde mu maka g’omukulembeze w’eggwanga, Omukyala ono afudde aweza emyaka 92 Wajja kubaawo okusabira omwoyo gwe ku lw’okubiri ku kkanisa y’abadiventi Entebbe  olwo […]

Dereeva w’omubaka Kasibante akwatiddwa

Ali Mivule

May 16th, 2015

No comments

Poliisi ekutte dereeva w’omubaka we Rubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante . Ono abadde avuga motoka ebadde eranga olukungaana lw’ategese e Nakulabye okwebuuza ku bantu ku nongosereza mu mateeka g’eby’okulonda Kasibante agambye nti yawandiikira poliisi okugitegeeza ku lukungaana kale nga tewali nsonga ate lwaki abantu be […]

Abatisse akabindo bakwatiddwa

Ali Mivule

May 16th, 2015

No comments

Poliisi ye Luweero eriko emotoka z’amanda 25 z’ekutte lwakutikka kabindo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu. Akulira poliisi y’ebidduka mu kitundu kya Savanah Hassan Ssekalema agambye nti emotoka zabadde zittisse nyo ate nga ziri mu mbeera mbi. Sekalema agambye nti emotoka nga zino […]

Eyali pulezidenti asaliddwa kalabba

Ali Mivule

May 16th, 2015

No comments

Eyali omukulembeze wa misiri Mohamed Morsi asaliddwa ekibonerezo kya kuwandikibwa ku kalabba. Kiddiridde ono okusingisibwa emisango gy’okumenya ekkomera okutolosa abantu bonna abaali bakwatiddwa nga beekalakaasa okuvuunika gavumenti ya Hosni Mubarak. Kati ebisaliddwaawo abalamuzi byakusindikibwa eri bannadiini abakulemberwa mufuti okusalawo oba attibwa oba nedda Wabula ono […]

Ababadde beekalakaasa bakubiddwa amasasi agabasse

Ali Mivule

May 15th, 2015

No comments

Abavubuka 2 bakubiddwa amasasi agabatiddewo mu kwekalakaasa kw’abayizi mu ggwanga lya Chile. Abagenzi bategerekese nga  Exequiel Borbaran, 18, ne  Diego Guzman, 24. Bano batiddwa mutabani mu maka agamu kwebabadde basiiga birangi mu kwekalakaasa . Abayizi mu ggwanga lino bazze bekalakaasa nga baagala enongosereza mu by’ensoma […]

Gwebalumiriza obulogo bamusse

Ali Mivule

May 15th, 2015

No comments

Abatuuze be  Buzaaya mu disitulikiti ye Kamuli bakkakanye ku musajja gwebalumirizza  okubeera omulogo nebamutta. Abatuuze bazze balumiriza Moses Mutawoza okutta banaabwe ku kyalo nga abasindikira ebyokoola. Bano bategezezza nga ekikolwa kya kalogo kalenzi ekyakasembayo, omusajja ono y’aloga abaana b’essomero 3 nebagwa ku kabenje nebafa okusobola […]

Omwan atomeddwa motoka emusse

Ali Mivule

May 15th, 2015

No comments

Omuyizi w’ekibiina ekyokuna ku ssomero lya  Nyamitanga Primary school e  Sembabule atomeddwa mmotoka nemuttirawo Musa Ssekandi y’atomeddwa ttipa namba  UAU 803C ebadde eva e  Nyamitanga okudda e Ntusi nga era okusinziira ku taata w’omugenzi Muhamad Kalanzi mutabaniwe abadde adda waka okuva mu katawuni ke Nyamitanga […]