Amawulire

Omuyizi asse munne

Ali Mivule

May 9th, 2015

No comments

Waliwo omuyizi akwatiddwa lwakutta munne Joel Odoi ng’ali mu kibiina kya kuna mu ssomero lya Tororo Children of Promise primary school  yalwanaganye ne munne n’amusindika neyekoona n’atandika okuvaamu omusaayi era n’afa Omwana ono yafudde atuusibwa mu ddwaliro ab’essomero gyebamuddusizza nga biwalattaka Omwogezi wa poliisi mu […]

Liberia eweddemu Ebola

Ali Mivule

May 9th, 2015

No comments

Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kirangiridde nti eggwanga lya Liberia liweddemu ekirwadde lya Ebola Kiddiridde eggwanga lino obutafunayo mulwadde yenna mupya mu nnaku 42 Omukulembeze ali mu ntebe Ellen Johnson Sirleaf ategeezezza omukutu gwa BBC nti musanyufu nyi eggwanga lye libadde livudde ku bwerende Abantu abasoba […]

Mubarak bamusibye

Ali Mivule

May 9th, 2015

No comments

Eyaliko omukulembeze w’eggwanga lya Misiri Hosni Mubarak asibiddwa emyaka esatu ku misango gy’obuli bw’enguzi egibadde gimuvunaanibwa Kiddiridde ono okuddamu okuwozesebwa mu kibuga ekikulu Cairo Bbo batabani bwe basibiddwa emyaka ena buli omu ng’ogubavunaanibwa kwezibika obukadde bwa doola 14 ezaali ez’okuddabiriza olubiri lw’omukulembeze w’eggwanga. Gino gy’emisango […]

Aba Bkokoharam bazzeemu okujojobya Nigeria

Ali Mivule

May 8th, 2015

No comments

Abakwatammundu babiri balumbye ettendekero ly’ebyobusuubuzi mu kibuga Potiskum mu Nigeria Abayizi mukaaga beebalumiziddwa mu bulumbaganyi buno obubaddemu amasasi okwesooza Abasajja bano era babadde batambulira wamu n’omutujju abadde yesibyeeko bbomu nga yeebalulidde awasimba emmotoka Tewali yewaanye kukola bulumbaganyi buno kyokka ng’obulumbaganyi bw’ekika kino butera kukolebwa aba […]

Ivan Kyayonka afudde

Ali Mivule

May 8th, 2015

No comments

Abadde akulira olukiiko lw’ekittavvu ky’abakozi ekya NSSF Ivan Kyayonka afudde. Kyayonka afiiridde mu ggwanga lya Kenya gyeyaddusibwa oluvanyuma lw’embeera okutabuka Ono nno era yakulemberako kkampuni ya VIVO energy emanyiddwa nga Shell okumala akabanga. Yye amyuka amyuka akulira atwala kkampuni ya NSSF Geraldine SSali agambye nti […]

Eyasibwa amayisa ayimbuddwa

Ali Mivule

May 8th, 2015

No comments

Omusajja abadde yakamala emyaka munaana mu kkomera oluvanyuma lw’okusibwa amayisa kyaddaaki eyimbuddwa Misanch Beyaka nga mutuuze ku kyaalo Myaniko e Bushenyi yasingisibwa omusango gw’obutemu kkooti ye Mbarara era n’asibwa mayisa mu mwaka gwa 2008. Wabula olwaleero, abalamuzi abasatu abakkooti ejulirwaamu okubadde Remmy  Kasule,  Solomy Barungi […]

Ababadde mu loogi babayodde

Ali Mivule

May 8th, 2015

No comments

Poliisi e Kayunga ekutte bannanyini loogi 10 n’abazibaddemu 22 nebalugenderamu nga babalanga kubeera bazzi ba misango Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu kiro okukendeeza obuzzi bw’emisango Atwala eby’okunonyereza ku buzzi bw’emisango Ayub Waiswa agamba nti bannanyini loogi zino balina okuwandiisa ba kasitoma baabwe tebataakoze ate […]

Ondoga yejjerezeddwa

Ali Mivule

May 8th, 2015

No comments

Eyali omuduumiza w’amaggye ga Uganda mu ggwanga lya Somalia Brigadier Michael Ondoga yejjerezeddwa emisango egibadde gimuvunanibwa. Kino kiddiridde oludda oluwaabi okujja enta mu misango egibadde kimuvunaanibwa. Ondoga olwaleero abadde azze mu kkooti  okusaba okweyimirirwa, kyokka bw’atuuse mu kooti omulamuzi n’amutegeeza nti emisango gyonna gimujjiddwaako. Oludda […]

Abafumbo bakwatiddwa lwakutulugunya muzzukulu

Ali Mivule

May 8th, 2015

No comments

Poliisi ye  Kyazanga mu disitulikiti ye  Lwengo eriko abafumbo b’ekutte lwakutulugunya muzukulu waabwe ow’emyaka 3. Isa Ssekamate ne mukyalawe  Justine Nyirakihiza abatuuze ku kyaalo  Kanyogoga bebakwatiddwa oluvanyuma lwa muliraanwa okwekubira enduulu ku poliisi nga okutulugunya kususse. Akola ku nsonga z’abaana n’amaka ku kyalo Kanyongoga Gertrude […]

Abalamuzi betaaga buwumbi okusala emisango

Ali Mivule

May 8th, 2015

No comments

  Okugyako nga abawaabi ba gavumenti baweereddwa ebyetagisa mu kukola emirimu gyabwe, gavumenti yakumegebwa nyo mu misango egyenjawulo. Kino kyasanguziddwa amyuka ssabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana agamba okuwulira emisango kulina ekiseera ekigere kale nga nga abalamuzi betaaga okwetegeka obulungi naye nga balina ebikozesebwa ebyetaagisa. Rukutana […]