Amawulire

Mao awereddwa ekitanda

Ali Mivule

May 13th, 2015

No comments

Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao embeera ye eyongedde okutabuka ey’ebobulamu nga kati awereddwa e Kitanda. Mao ajjanjabibwa ku ddwaliro lya International Hospital Kampala gyeyawereddwa ekitanda yadde nga yabadde  agenze kumukeberako. Wabula ssabawandiisi wa DP Mathis Nsubuga agamba nti embeera ssi mbi biri awo era […]

Mbabazi alumbye Lumumba

Ali Mivule

May 13th, 2015

No comments

Eyali ssabawandiisi wa NRM Amama Mbabazi alumbye eyamuddira mu bigere olw’okulemesa ababaka abesimbawo ku bwa nnamunigina okuwandiisibwa kwa ba memba okugenda mu maaso. Olunaku lwajjo, ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba yategeezezza nga bwebatagenda kukkiriza kuwandiisa besimbawo ku bwa namunigina, bakiwagi abeewaggula ku kibiina   kko […]

Omuyimbi Bibuuza tennaba kutereera

Ali Mivule

May 11th, 2015

No comments

Aba famire yomuyimbi Madina Kansiime amanyiddwa nga Bibuuza basabye abasawo okuleka  omulwadde waabwe agira abeera mu ddwaliro okutuusa ng’ateredde bulungi. Kino kiddiridde embeera ye okweyongera okutabuka ate nga yabadde asibuddwa olunaku lwajjo kyokka kai embeera gy’alimu eraga nti akyali bubi. Madina yatusobodde okwogerako naye wabula […]

Ababundabunda okuva e Burundi beeyongedde

Ali Mivule

May 11th, 2015

No comments

Ababundabunda okuva e Burundi abasoba mu 500 beebamaze okwesogga Uganda Bano batuukidde mu nkambi ya Nakivale ne Orukinga mu disitulikiti ye Isingiro Abasinga ku bano bakyala na baana. RDC we Isingiro omukulu Herbert Muhangi agambye nti abatuuka beebafunira webasula n’asaba bannayuganda okwaniriza abantu bano. Embeera […]

Okuwozesa Mukulu kutandise mu Tanzania

Ali Mivule

May 11th, 2015

No comments

Ensonga z’okukomyaawo aduumira abayekeera ba ADF mu ggwanga Jamil Mukulu zeyongeddemu kigoye wezinge. Agava mu Tanzania galaga nga kkooti yaayo enkulu bw’etandise okuwulira omusango gwa Mukulu ng’avuganya Uganda nga tannakomezebwaawo wano Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti baweerezza ekibinja ky’abakugu okuva mu ofiisi ya […]

Aba poliisi bakugobwa

Ali Mivule

May 11th, 2015

No comments

Poliisi yakukwata ba ofiisa baayo bonna abasuulawo emirimu nga tebakoze kusaba mu butongole Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa poliisi, abapoliisi 37 beebatali ku mirimu ate nga tebaawa nsonga yonna. Kino kikwata ku ba ofiisa bonna abamaze ennaku 21 nga tebali ku mirimu ate nga tebaasaba Ssinga gubakka […]

Ababaka bakiwagi ssibakuwandiisibwa

Ali Mivule

May 11th, 2015

No comments

Ekibiina kya NRM kitegeezezza nga bwekitagenda kuddamu kuwandiisa babaka bakiwagi mu kuddamu okuwandiisa ba memba okugenda mu maaso. Kino kizze ng’ekibiina kino kiteekateeka okutandika okuwandiisa ba memba baakyo bonna okuva ku lw’okutaano luno Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba agamba nti bawummuzibwa akakiiko akafuzi ak’ekibiina […]

Mukula tadda mu municpaali

Ali Mivule

May 9th, 2015

No comments

Omubaka wa municipaali ye Soroti Mike Mukula olwaleero alangiridde nga bw’atagenda kuddamu kuvuganya ku municipaali eno Bino abirangiridde ku mukolo ogubadde ku Soroti sports ground Ku mukolo guno era Mukula kw’asinzidde okwebaza abantu be Teso olw’okumuwagira n’okumwagala emyaka gyonna gy’abadde mu bukulembeze.

Enkuba ebagoyezza- beekalakaasizza

Ali Mivule

May 9th, 2015

No comments

Abatuuze be  gombolola ye Buwama mu disitulikiti  ye Mpigi bekumyeemu ogutaaka nebasima ebinya wamu n’okusuula emisanvu mu kkubo, nga bagamba nti disitulikiti ye Mpigi eremereddwa okukola enguudo zaabwe. Bano bazibye oluguudo oluva e Mpigi okudda e Butambala okutuuka e Gomba nga bagamba nti  lufuuse kizibu […]

Eza pensoni zikyabuulizibwaako

Ali Mivule

May 9th, 2015

No comments

Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku mateeka n’emirimu gya palamenti  kattukizza okunonyereza ku nsimbi z’abakozi abawummula nga zino ziwerera ddala obuwumbi 165 ezabulankanyizibwa. Kino kiddiridde amawulire okulaga ng’ebitongole bya poliisi bwebitandise okulwanagana mu kubuuliriza ate nga waliwo n’abasirkale ba poliisi abagambibwa okulya okulya enguzi okutta omusango. […]