Amawulire

Ssemaka asse Mukyalawe n’omwana – naye yesse

Ali Mivule

May 8th, 2015

No comments

  Abatuuze ku kyalo  Kaswa mu disitulikiti ye Luweero bakumye omuliro ku mulambo gw’omusajja gwebatebereza  okutta mukyalawe ne muwalawe oluvanyuma naye neyetta. Omulambo gwa  John Nsigiriyarema Byaruhanga gusangiddwa abaana ababadde bagenze okukima amazzi ku bowa . Kigambibwa nti omusajja ono yasoose kutta mukyalawe Rose Nanteza […]

Abalala bana bafudde e Burundi

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Abantu bana beebafudde mu kwekalakaasa okuggya okubaluseewo mu ggwanga lya Burundi Kiddiridde omukulembeze ali mu ntebe Pierre Nkurunziza okutegeeza nga bw’ajja okwesimbawo ku luno kyokka nga eby’ekisanja ky’okuna yabivuddeko Yye omuwagizi wa gavumenti abadde atinkiza bamukumyeeko omuliro ate ng’avuganya gwebakubye essasi ku mutwe Omukago gw’amawanga […]

Abatta munaabwe e Makerere bazzeeyo e Luzira

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Abayizi be Makerere 3 abagambibwa okutta eyali muyizi munaabwe David Ojok baddiziddwaayo e Luzira. Kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda road Pamela Ocaya nti okunonyereza ku nsonga eno kukyagenda mu maaso. Abasatu kuliko Ivan Mutungi, Marvin Atukwase ne Derrick Wagooli […]

Gwebakoonye etemeddwaako okugulu

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Abasawo e Mulago bamaze okusalako okugulu kw’omutembeyi  eyatomeddwa emotoka akawungezi k’eggulo ng’abasirikale ba KCCA bamugoba olw’okukolera ku luguudo. Shamim Namakula aweza egy’obukulu 42 nga mutuuze we Kibuye ,yakoneddwa ku luguudo lwa Nakivubo gy’akolera . Mu ngeri yeemu twogeddeko abamu ku basuubuzi bakola nabo wabula bonna […]

Bukenya wakuzikizibwa

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Ekitongole ekikola ku bigezo mu ggwanga kitandise ku mulimu gw’okufuna omuwandiisi omuggya Omuwandiisi w’ekitongole kino mu kadde kano Matthew Bukenya wakuva mu ofiisi nga 1st November era ng’ekigendererwa kyakufuna omusika we mu mwezi gwa December. Ssentebe w’ekitongole kino Kakensa Mary Okwakol agamba nti ssabbiiti ejja […]

Buganda yegaanye essomero lya Nabagereka

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Olukiiko lw’ebyettaka mu bwakabaka bwa Buganda olwa  Buganda land board lwegaanye essomero lya Nabagereka  primary school nti tebalirinaako bwananyini. Bano bagamba gavumenti  eyawakati  y’agenda okubaddiza ebimu ku bintu  bya Buganda nga akakiiko k’ebyettaka ak’eggwanga kamaze okugaba ettaka lino eri abakampuni ya Boost investments ku liizi […]

Mu Bungereza kulonda

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Obukadde n’obukadde bwa Bangereza batandise okusuula obululu bwabwe okulonda abakiise baabwe abenjawulo. Ebifo ebisoba mu mitwalo 5 byebatereddwawo okulonderawo okutuusa ku ssaawa 4 ezekiro. Okusooka ababaka ba palamenti bebagenda okulondebwa nga era abantu abasoba mu bukadde 50 bebewandiisa okulonda. Ababaka ba palamenti 650  bebokuilondebwa ssaako […]

Abavubuka banatambula okutuuka e Kenya

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Abavubuka b’ekibiina ekyeyita ekyabaavu ekya  poor youth’s brigade mu lufuutifuuri balangiridde enteekateeka zaabwe ez’okutambula omwezi mulamba batuuke mu ggwanga lya Kenya. Olugendo lwabwe balutuumye olugendo lw’okufuna emirembe baakulutegeka mu kiseera kyekimu omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barak Obama lwagenda okukyalako mu ggwanga lino mu mwezi ogwomusanvu […]

Temwekubira mu kalulu- bannakyeewa

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Ebibiina by’obwanakyewa bisabye poliisi ereme kwekubira ludda wabula bakole n’obukugu obwetagisa okulaba nga okulonda kwa 2016 kubeera kwamazima. Akulira ekibiina kya RIDE-Africa Sam Rukidi agamba singa poliisi yekubira oludda kyandivaako obutabanguko mu ggwanga. Nga ayogerera mu lukungaana lw’abalwanirira eddembe ly’obuntu,  Rukidi y’ategezezza nga ebitongole ebikuuma […]

Omusumba akabasanyizza omukyala

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

Poliisi ye Bukomansimbi eriko omusumba w’abalokole gwekutte lwabigambibwa nti aliko omukyala gweyakabasanyizza. Muhamad Nyerere akulira ekanisa ya  Butenga Miracle Center y’akwatiddwa ku bigambibwa nti yesozze enyumba y’omukyala ono n’amumalirako ekimiirimiiri. Omukyala ategezezza nga omusumba ono bweyamenye oluggi lwe olw’emanju natuukira mu kisenge n’amukaka akaboozi. Mukazi […]