Amawulire

Poliisi ezinzeeko Besigye ne Lukwago

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Poliisi ezinzeeko amaka g’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye ne loodi meeya erias Lukwago nebabalemesa okuva ewaka. Besigye y’omu ku kibinja kyabanakibiina kya FDC abasuubirwa okulabikako mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka akakola ku nsonga z’ebbago z’etteeka ku nongosereza mu ssemateeka w’eggwanga. Ekikwekweto […]

Abasabaaza abantu bakwekalakaasa

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Abasabaaza abantu mu kibuga balangiridde nga bwebagenda okwekalakaasa ku lusooka lwa ssabbiiti ejja ssinga ensonga zaabwe tezikoleddwaako Bano kuliko aba baasi, aba Taxi, bi loole ne Bodaboda Bemulugunya ku kyebayise okutulugunyizibwa KCCA nga tebasobola kukola Atwala aba biloole omukulu Byron Kinene agambye nti bakooye okubajjako […]

Munyweeze eby’okwerinda ku MUBS

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Oluvanyuma lw’obulumbaganyi okweyongera ku bayizi, ab’ettendekero lya MUBS balagiddwa okussaawo obukuumi eri abayizi abasoma akawungeezi. Kiddiridde okuttibwa kw’omuyizi Beatrice Mudondo eyattiddwa ku nkomerero ya wiiki Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ebisulo by’abayizi birina okubeerako abakuumi n’amataala okwewala okubakola obulumbaganyi Enanga gamba nti kati […]

Ssabawaabi alonze asikidde Kagezi

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Ssabawaabi wa gavumenti alonze bannamateeka bataano okukola ku musango oguvunaanibwa abagambibwa okutega bbomu mu mwaka gwa 2010. Ekibinja kino kyakukulemberwa omukyala Suzan Okalany okuzibikira ebituli ebyalekebwa omukyala Joan Kagezi eyakubwa amasasi ng’adda ewaka n’afa Olukiiko olubalonze lukubiriziddwa omulamuzi Alphonse Owinydollo nga kati gwo omusango gwakuwulirwa […]

Bannakyeewa bawakanyizza ebbago

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Ebibiina by’obwa nnakyeewa mu ggwanga bisabye gavumenti okusazaamu ebbago ly’etteeka ku mirimu gyaabyo Ebbago lino okusinziira ku bibiina lino ligendereddwaamu kubalemesa mirimu Yye akulira ekibiina kya Human rights Centre Uganda Margret Ssekajja agambye nti ebbago lino lirimu obuwaayiro obukakali obubalemesa ono n’ako akassaawo ebibonerezo ebikakali […]

Abasomesa ne gavumenti basibaganye enkalu- akeediimo kakyaliko

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Akafubo wakati wa gavumenti n’abasomesa kafundikiddwa nga tewali kituukiddwaako Abasomesa bano balangirira okwekalakaasa okutaliiko kkomo okutuuka nga bongezeddwa emisaala n’okuweebwa ensimbi zaabwe ez’okwekulakulanya Abasomesa ne gavumenti basibaganye enkalu nga gavumenti egamba nti terina ssente kyokka nga nabo balemedde bagaala zaabwe Atwaala omukago gwaabwe Margret Rwabushaija […]

Abasomesa balemedde ku nsonga yadde ba RDC bakanze nga bwebajja okugobwa ku mirimu

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

  Akeediimo k’abasomesa kasanyalazza ebyensoma naddala wano mu kampala. Abayizi bali wabweru bakonkomadde nebyabatumwa nga olusoma luggulawo awatali basomesa babafaako. Ebibiina ebisinga bikalu nga era n’abasomea abamu bakyali mu mayumba gaabwe  ebyokusomesa  ssibyebaliko. Ku Masomero ag’enjawulo okuli Old Kampala Primary school, Bat Valley ne Mengo […]

Tewali nyonyi yakubiddwa- UPDF

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Amagye ga UPDF geganye ebigambibwa nti waliwo enyonyi yaabwe eyakubiddwa mu ggwanga lya South Sudan. Abayeekera abakulemberwa  Riek Machar baategezezza nga bwebakubye enyonyi ennwanyi eyabadde egezaako okusuula bbomu mu nfo zaabwe e Malakal. Omwogezi w’amagye ga UPDF Agomubbanga Maj.Tabaaro Kiconco agamba amagye ga UPDF tewali […]

Baryamureeba ajja ku bwa pulezidenti

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

  Eyali amyuka ssenkulu w’ettendekero ly’e Makerere  Pulofeesa  Venancius Baryamuleeba alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo ku bwa pulezidenti omwaka ogujja. Nga ayogerako nebannamawulire amakya galeero, Baryamureeba ategezezza nga bw’agenda okwesimbawo bwanamunigina era ssiwakugyira mu kibiina kyabyabufuzi kyonna. Ategezezza nga bwayagala okulaba nga empeereza y’emirimu erongooka mu […]

Essomero liggaddwa lwa bbanja

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Abayizi ku ssomero lya  Ushindi primary school bibasobedde oluvanyuma lwa bawanyondo ba kkooti okuggala essomero lino ku biragiro bya kkooti. Abayizi bakedde ku ssomero lino naye babaganye okuyingira ebibiina . Enkayana ziva ku  Emmanuel Tumwine Ayume okuguza bananyini ssomero lino ettaka emyaka 10 egiyise wabula […]