Amawulire

Abasomesa balemedde ku nsonga yadde ba RDC bakanze nga bwebajja okugobwa ku mirimu

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

Buganda road 2

 

Akeediimo k’abasomesa kasanyalazza ebyensoma naddala wano mu kampala.

Abayizi bali wabweru bakonkomadde nebyabatumwa nga olusoma luggulawo awatali basomesa babafaako.

Ebibiina ebisinga bikalu nga era n’abasomea abamu bakyali mu mayumba gaabwe  ebyokusomesa  ssibyebaliko.

Ku Masomero ag’enjawulo okuli Old Kampala Primary school, Bat Valley ne Mengo  abayizi bali bweru bezanyira.

Gyebuvuddeko Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa bano mu ggwanga  Margret Rwabushaija y’ategezezza nga bwebasaanye  okwediima okumalamu gavumenti ejjoogo kubanga baajiwa ennaku 90 okukola ku nsonga zaabwe wabula nga tebarabawo kale nga kyekiseera nabo okugikuba awaluma.

Bano baagala kwongezebwa musaala n’ebitundu 10% ssaako n’okuweebwa ssente zaabwe ezabaweebwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okwekulakulanya.

Abasomesa bano basuubirwa okusisinkanamu ssabaminisita w’eggwanga Dr.Ruhakana Rugunda okwongera okuteesa ku nsonga y’okukomya akediimi kano

Mungeri yeemu atwala ebyenjigiriza e  Mubende Benson Kayiwa yenyigidde butereevu mu kulaba abasomesa abagaanye okulinnya mu bibiina

Ate mu bitundu bye Jinja nayo abasomesa bagaanye okudda mu bibiina yadde nga omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno atiisizza okukangavvula abaganye okusomesa nga era alambula ssomero ku ssomero.

Amasomero ga gavumenti e Mukono agasinga obungi gaguddewo wabula nga teri kusomesa baana kugenda maaso.

Amasomero okuli Bishops Central ne Bishops East P/S mu kibuga kye Mukono abasomesa abatono abazze, batuzizza abaana munda mu bibiina tebabakiriza kuzanya wabweru abantu okubalaba, bali munda bakuba mbekuulo nga nabasomesa bali wabweru mu miti banyumya tebasomesa.

Ku Bishops West bbo abaana bazanya abasomesa tebajidde ddala olwakediimo kaabwe akagenda mu maaso.

Ate amasomero agali mu gombolola ye Nakisunga  mu byalo  okuli Mwanyangiri, Seeta Nazigo nawalala tegaguliddeewo ddala.

Akulira ebyenjigiriza e Mukono Balaza Vincent nomubaka wa Presidenti e Mukono  Capt. Kigozi Kaweesa tebanafunika kwogera ku mbeera egenda maaso bevumbye akafubo, batugambye bakyali mu meeting.