Amawulire

Abasomesa ne gavumenti basibaganye enkalu- akeediimo kakyaliko

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

teachers meet prime minister

Akafubo wakati wa gavumenti n’abasomesa kafundikiddwa nga tewali kituukiddwaako

Abasomesa bano balangirira okwekalakaasa okutaliiko kkomo okutuuka nga bongezeddwa emisaala n’okuweebwa ensimbi zaabwe ez’okwekulakulanya

Abasomesa ne gavumenti basibaganye enkalu nga gavumenti egamba nti terina ssente kyokka nga nabo balemedde bagaala zaabwe

Atwaala omukago gwaabwe Margret Rwabushaija kati agamba nti bategeraganye okuddamu okusisinkana olw’okusatu kyokka nga kko akeediimo kakyagenda mu maaso

Mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu embeera ya njawulo

E Kalangala , bbo tebawulidde mulanga guno nga bagenze mu maaos n’okusomesa awatali buzibu bwonna

Ku masomero gyetuyise nga Kibanga Primary School, Bishop Dunstan Memorial SS and Sserwanga Lwanga Memorial SS , abasomesa balabiddwaako nga basomesa bulungi era ng’eno abasomesa bagambye nti ku luno tebeekalakaasizza nti abakulembeze baabwe olwasemba babalyaamu olukwe

Mu kibuga kye Masaka, akulira essomero lya Bwaka Primary Hajjat Sophia Nyofa agambye nti basomesezza kubanga tebaafunye bbaluwa ya UNATU mu butongole.

Akulira e Gombolola ye Bigasa Joseph Kakooza agambye nti balambudde amasomero agatali gamu okuzuula oba gagguddewo kyokka ng’era okwekalakaasa kw’abasomesa kukosezzaamu embeera kubanga abayizi abasinga tebatawaanye kusoma

Ono agamby enti yadde abasomesa ku masomero nga Busagula, Kayonga ,Bulenge ,Buswege ne Kigangazi  bagenze ku masomero, abayizi babadde batono ddala.

Ate mu disitulikiti ye Mpigi, atwala essomero lya Buyiwa Desire Lwere agambye nti bajja kudda mu bibiina nga bamaze kwongezebwa musaala.

Ate mu disitulikiti endala nga Mbale, ebibiina bisiibye biggale.

Abasomesa naddala mu byaalo tebatawaanye kulinnya ku masomero era nga bagamba tebajja kukikola okutuuka nga basasuddwa

Ku ssomero lya North road primary school, omu ku bazadde atutegeezeza nti basanze ebibiina bisibe nga tewali na basomesa okuleka abalongoosa

Ate e Butalejja, akulira ekibiina ekigatta abasomesa, Betty Namulwa agambye nti okwediima kwekuli era abazadde tebatawaana kusindika baana

Ate e Manafwa, atwala ekibiina ky’abasomesa George Kuloba Wamai alabudde abazadde abaweereza abayizi ku ssomero ng’agamba nti bbo bali mu luwummula

E Buduuda ku Pulayimary, abayizi batono balabiddwaako wansi w’emiti kyokka nga teri basomesa babafaako

Okuddako mu disitulikiti te Gulu, Abayizi batono abagenze okusoma

Ku ssomero lya Gulu Prison primary school, ku baana 826, 186 beebagenze okusoma

Ku ssomero lya Unifat primary school  , akulira essomero lino atugambye nti abantu babuzabuziddwa obubaka bwa Notu nebatawereeza baana

Atwala ebyenjigiriza e Gulu Rev. Vincent Ocen  asabye abasomesa okudda mu bibiina ng’ensonga yaabwe bw’ekolebwaako

Mu disitulikiti ye Pader, abasomesa basabiddwa okwongera okwogera ne gavumenti mu kifo ky’okwediima

RDC wa disitulikiti eno Justine Lungajulu, asabye abasomesa okwewala okubuzabuuzibwa ekibiina kya UNATU kubanga ssiyebasasula