Amawulire

Gavumenti yakwewola obuwumbi obusoba mu 200

Ali Mivule

May 21st, 2015

No comments

  Olukiiko lwabaminisita luwadde gavumenti olukusa okwewola obuwumbi 280 okwongera ku bunji bw’amasanyalaze mu ggwanga. Ku zino obukadde bwa Euro 45 bwakuva mu ekitongole kya Bufaransa ekyebyenkulaklana sso nga obukadde 40 zaakuva mu banka mu ggwanga ya Germany eya German Development Bank. Zino zaakuzimba ebbibiro […]

Namwandu wa Kasiwukira bamwongeddeyo mu kkooti enkulu

Namwandu wa Kasiwukira bamwongeddeyo mu kkooti enkulu

Ali Mivule

May 21st, 2015

No comments

Sarah Nabikolo nga ono ye namwandu w’omugenzi Eria Ssebunya bangi gwebamanyi nga Kasiwukira asindikiddwa mu kkooti enkulu ne banne abalala babiri ku musango gw’okutta bba. Ono abadde alabiseeko mu kkooti ye Makindye Obujulizi obuleeteddwa mu kkooti eno bulaze nga Kasiwukira ne mukyalawe bwebaalina obutakkaanya mu […]

poliisi erumirizza Lukwago ne Besigye okupangisa bamalaaya

poliisi erumirizza Lukwago ne Besigye okupangisa bamalaaya

Ali Mivule

May 21st, 2015

No comments

  Poliisi erumirizza loodi meeya Erias Lukwago n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye nti bapangisa bamalaaya okugyeyambulira buli lwebaba babakwata nga bakuba enkungaana z’enongosereza mu mateeka g’eggwanga. Aduumira ebikwekweto mu mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi ategezezza nti ababiri bano baagala kutabangula mirembe mu Kampala […]

Bannabyabufuzi beeyimiriddwa

Bannabyabufuzi beeyimiriddwa

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Bannabyabufuzi 10 abavunaanibwa okufuuka ekisekererwa kyaddaaki beyimiriddwa . Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City Hall Moses Nabende. Ekkumi bano kuliko n’omuyambi wa loodi meeya wa Kampala  Deo Mbabazi nga eya beyimiriddwa ku mitwalo 50 buli omi nga ababeyimiridde buli omu akabbe wa […]

Abavuganya batabuse ku banaabwe abakwatiddwa

Abavuganya batabuse ku banaabwe abakwatiddwa

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye okuwaayo endowooza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka w’eggwanga olwa bannaabwe abakwatiddwa. Bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu ne ssenkagale w’ekibiina kya FDC Mugisha Muntu bategezezza nga bwebatayinza Kuteesa nga banaabwe tebaliiko. Bano babadde balina okulabikako mu […]

Abasomesa bagenze mu maaso n’akeediimo- abayizi bakaaba

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Ng’abasomesa bagenda mu maaso n’okwekalakaasa, abazadde abasinga leero basazeewo butatawaana kusindika baana ku ssomero Ku ssomero lya Kyagwe road primary school, Nakivubo blue primary, Nakivubo settlement ne Bat valley primary school , abayizi balabise nga baakendedde okusinziira ku baatandise olunaku lwajjo Abasomesa betwogeddeko nabo bagamba […]

Akulira abakyala ba FDC Ingrid akwatiddwa

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Eby’ekibiina kya FDC okugenda mu palamenti okuwa endowoza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka kwongedde okukaluba. Kati akulira abakyala mu FDC  Ingrid Turinawe akwatiddwa wamu ne banne abalala 2 wali ku palamenti gyebabadde bagenze okuwayo endowooza zaabwe. Akulira abavubuka ba FDC Francis Mwijukye agambye nti bano […]

Ettaka libisse abantu

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Abantu abasoba mu  50 bafudde oluvanyuma lw’ettaka okubumbulukuka nelibaziika  mu ssaza lye  Antioquia  mu ggwanga lya Colombia. Omukulembeze w’eggwanga lino  Juan Manuel Santos ategezezza nga ab’obuyinza bwebatamanyi bantu bameka bakyabutikiddwa  naye nga batya nti abawerako baakiziddwa. Enkuba eyatonye nga tesalako y’aviiriddeko omugga  Liboriana okubooga amazzi […]

Abadde yetta lwa mukamwana

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Poliisi mu disitulikiti ya  Amuria eriko omukazi ow’emyaka 46 gwekutte lwakugezaako kwewa butwa yette nga alumiriza mukamwanawe okumuyisaamu amaaso.   Okusinziira ku yeerabiddeko n’agage,Margaret Idiat agezezzaako okwetta nga agamba akooye okujoogebwa.   Mukyala  Margaret Idiat agamba mukaamwanawe ono Hellen Apio tasiima.y’abagulira ettaka n’okulabirira mutabaniwe mungeri […]

Okuzimba oluguudo lw’eggaali kutandika akadde konna- Minista

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Minisita webyenguudo Engineer John Byabagambe ategezezza nti omulimu gwokuzimba oluguudo lwe ggaali yomukka olwa STANDARD Gauge Railway ebula mbale gutandike. Agambye bana Uganda yonna gyerunayita tebagenda kutandika kintu kyonna nga tebamaze kuliyirira bantu, abasing kyebabadde bererikiridde. Asinzidde mu Colline Hotel e Mukono mu musomo ogwategekeddwa […]