Amawulire

Akulira abakyala ba FDC Ingrid akwatiddwa

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

Ingrid arrested

Eby’ekibiina kya FDC okugenda mu palamenti okuwa endowoza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka kwongedde okukaluba.

Kati akulira abakyala mu FDC  Ingrid Turinawe akwatiddwa wamu ne banne abalala 2 wali ku palamenti gyebabadde bagenze okuwayo endowooza zaabwe.

Akulira abavubuka ba FDC Francis Mwijukye agambye nti bano bakwatiddwa n’omukyala ategerekese nga Nalongo Hamida ng’ono yye ayambuddwa n’okukubwa ensambaggere ezimutwazizza mu ddwaliro e Mulago

Ebyo nga bikyali bityo n’okutuusa kati Poliisi ekyalemesezza eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye ne loodi meeya Erias Lukwago okufuluma amaka gaabwe.