Amawulire

amaggye galongoosezza

Ali Mivule

May 30th, 2015

No comments

Amaggye g’eggwanga olwaleero gakwataganye n’aba KCCA okusimba emiti mu kawefube atuumiddwa “Go Green” campaign, Bano basimbye emiti 20 e Banda mu divizoni ye Nakawa, okuyoola kasasiro n’okulongoosa ebifo ebyenjawulo Akulembeddemu bannamaggye Col John Paul Ssonko agambye nti bakusigala era bakunga abantu okutumbula obuyonjo kubanga ekibuga […]

Enkuba esse omu

Ali Mivule

May 30th, 2015

No comments

Omuntu omu yeeyafiiridde mu nkuba eyatonye olunaku lwajjo Isaac Okello yagudde mu mwala gwe Bwaise era ng’omulambo gwe gwasobodde okuzuulibwa. Mu ngeri yeemu waliwo omusajja eyategerekese nga Robert eyanunuddwa okuva mu mwala gwa Nakivubo era natwalibwa mu ddwaliro e Mulago. Ate bbo abantu babiri banyiga […]

Gavumenti eyagala kunzita- Besigye

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atadde akaka ku byamutuusiddwaako olunaku lwajjo ng’agamba nti wandibaawo olukwe okumutta. Besigye yakwatiddwa olunaku lwajjo bweyabadde ayolekera Wankulukuku era mu kavuvugano, emotoka ye yayasidwa naye kenyini okukubwa kamulali Ng’ayogerako eri bannamawulire e Kasangati, Besigye agambye nti tewali […]

Yesimidde entaana

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

Waliwo akatambi akafulumye okuva mu ggwanga lya Syria ng’abakambwe ba Islamic State bakaka omusibe okusima entaana mw’abadde agenda okuziikibwa Omusajja ono abadde mu yunifoomu y’abasibe eya kipapaali alabibwa mu katambi ng’akwata ensuluulu, enkumbi n’ekitiiyo okusimba entaana ye. Abakambwe bano olumaze nebamusalako omutwe nebamukasuka mu ntaana […]

Abayizi be Makerere abatta munaabwe bakyakaliko

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

Abayizi be Makerere basatu abagambibwa okutta munaabwe bagaanye okweyimirirwa. Abasatu bano abagambibwa okutta David Ojok balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Albert Rugadya Atwooki Abayizi baali basabye basaba bayimbulwe okusobola okukola ebigezo byaabwe Omulamuzi agambye nti abayizi bano basobola okukola ebigezo nga bali mu kkomera nga kati […]

Ogwa Mobayilo mane gugobeddwa

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

  Omulamuzi wa kkooti ekola ku gy’obusubuzi Christopher Madrama agobye omusango ogwawaabwa omubaka Abdu Katuntu ng’ayagala bizinensi ya mobayilo mane eddukanyizibwe wansi w’etteeka elirambika ebyensimbi Katuntu ne munne Kimberly Kasana baddukira mu kkooti nga bagamba nti kkampuni z’amasimu okuddukanya mobayilo mane kiyita ku lisinsi yaabwe […]

Mukoka akulukuse okutuuka mu waadi e Mulago

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

Abalwadde n’ababalabirira ku waadi ya kazolite e Mulago basobeddwa mu nkuba etonnye emisana, amazzi bwegayingidde butereevu mu ddwaliro okukkakkana nga gabatuuseeko Waadi yonna ekubyeeko amazzi ekiwalirizza abasawo okukyusa abalwadde bonna nebabafulumya Waadi eno y’etuukirwamu abalwadde nga tebannaba kubawa bitanda Amazzi gano era gazibikidde ne kabuyonjo […]

Obuyigirize bujjibweeyo ku babaka

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya Dialogue and democracy training Centre bagaala obuyigirize buveewo ku besimbawo okukiika mu palamenti n’abaataasoma bavuganye Mu birowoozo byaabwe eri palementi, bano abakulembeddwaamu Henry Kasacca bagambye nti okusaba abantu ebbaluwa ya siniya y’omukaaga kulinyirira ddembe lyaabwe Bano bagaala Uganda erabire ku Tanzania ejjewo eby’ebobuyigirize

Disitulikiti ye Wakiso ne Mukono bakwawula ensalo

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

  Abakulira disitulikiti ye Wakiso ne Mukono bakkiriziganyizza okupangisa abapunta okupima ensalo ku kibangirizi ky’amakolero e Namanve ekikaayanirwa disitulikiti zonna. Enjuyi zombi zaabadde n’olukungaana nebakkiriziganya okugira nga baggula ensalo eno okulekawo olwa sseruganda . Akulira emirimu e Mukono Luke Lukorimo Lukuda baakukwatiza wamu ku bisale […]

Bakansala baganye omulanga gwa Nadduli

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

Bakansala ku disitulikiti ye Luweero basimbidde ekkuuli omulanga gwa Nadduli ogw’okukubiriza abafumbo okuzaala enyo okwongera ku bungi bwabannayuganda. Bakansala bagamba nti kawefube wa Nadduli talina mulamwa nga abantu olumala okuzaala batandika kusabiriza kuva eri bannabyabufuzi n’ebibiina byobwabakyewa. Bakanasla bano bayisizza obukadde 5 okugenda eri enteekateeka […]