Amawulire

Ogwa Mobayilo mane gugobeddwa

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

 

Omulamuzi wa kkooti ekola ku gy’obusubuzi Christopher Madrama agobye omusango ogwawaabwa omubaka Abdu Katuntu ng’ayagala bizinensi ya mobayilo mane eddukanyizibwe wansi w’etteeka elirambika ebyensimbi

Katuntu ne munne Kimberly Kasana baddukira mu kkooti nga bagamba nti kkampuni z’amasimu okuddukanya mobayilo mane kiyita ku lisinsi yaabwe ky’egamba eky’okusigala mu byempuliziganya

Ono yali yawaaba aba Mtn Uganda, Warid Uganda, Airtel Uganda, Uganda Telecom ne Orange Uganda.

Omulamuzi Madrama agambye nti ssinga ababiri bano baali bawakanya bikwata ku lisinsi za kkampuni zino tebandigenze mu kkooti