Amawulire

Bakansala baganye omulanga gwa Nadduli

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

Nadduli

Bakansala ku disitulikiti ye Luweero basimbidde ekkuuli omulanga gwa Nadduli ogw’okukubiriza abafumbo okuzaala enyo okwongera ku bungi bwabannayuganda.
Bakansala bagamba nti kawefube wa Nadduli talina mulamwa nga abantu olumala okuzaala batandika kusabiriza kuva eri bannabyabufuzi n’ebibiina byobwabakyewa.

Bakanasla bano bayisizza obukadde 5 okugenda eri enteekateeka y’okutumbula eby’obulamu naddala enkola yekizaala ggumba mukifo ky’okuwagira nadduli akubiriza abantu okuzaala enyo.
Kansala w’egombolola ye Butuntumula Sarah Namuyanja agamba zino ensimbi zezimu ku mbalirira y’obuwumbi 41 ey’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2015/2016 .
Wabula ye Hajji Nadduli abaaanukudde n’ategeeza nga buli Muntu Katonda bweyamutegekera omugabo gwe mu nsi eno kale bannayuganda basumulule bazaale .