Amawulire

Mukoka akulukuse okutuuka mu waadi e Mulago

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

Mulago hospital

Abalwadde n’ababalabirira ku waadi ya kazolite e Mulago basobeddwa mu nkuba etonnye emisana, amazzi bwegayingidde butereevu mu ddwaliro okukkakkana nga gabatuuseeko

Waadi yonna ekubyeeko amazzi ekiwalirizza abasawo okukyusa abalwadde bonna nebabafulumya

Waadi eno y’etuukirwamu abalwadde nga tebannaba kubawa bitanda

Amazzi gano era gazibikidde ne kabuyonjo kyokka ng’ab’eddwaliro bayise mangu ba yingiya okutereeza embeera