Amawulire

Disitulikiti ye Wakiso ne Mukono bakwawula ensalo

Ali Mivule

May 29th, 2015

No comments

Namanve park

 

Abakulira disitulikiti ye Wakiso ne Mukono bakkiriziganyizza okupangisa abapunta okupima ensalo ku kibangirizi ky’amakolero e Namanve ekikaayanirwa disitulikiti zonna.
Enjuyi zombi zaabadde n’olukungaana nebakkiriziganya okugira nga baggula ensalo eno okulekawo olwa sseruganda .

Akulira emirimu e Mukono Luke Lukorimo Lukuda baakukwatiza wamu ku bisale by’okuggulawo ensalo eno.
Enkaayana zatandika ku ntandikwa y’omwaka guno oluvanyuma lw’aba disitulikiti ye Wakiso okutimbulawo ekipande kya disitulikiti ye Mukono ekyaggya ab’e Mukono mu mbeera.

Mungeri yeemu obwakabaka bwa Buganda bwakupima ensalo wakati w’essaza lya Kyaggwe ne Kyaddondo nga era ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agenda okukulemberamu enteekateeka eno nga egimu ku mikolo gy’okukuza olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu.