Amawulire

Abasomesa bagenze mu maaso n’akeediimo- abayizi bakaaba

Ali Mivule

May 19th, 2015

No comments

teachers stick their guns

Ng’abasomesa bagenda mu maaso n’okwekalakaasa, abazadde abasinga leero basazeewo butatawaana kusindika baana ku ssomero

Ku ssomero lya Kyagwe road primary school, Nakivubo blue primary, Nakivubo settlement ne Bat valley primary school , abayizi balabise nga baakendedde okusinziira ku baatandise olunaku lwajjo

Abasomesa betwogeddeko nabo bagamba nti balinze ebinaava mu Lukiiko olw’okuna wakati w’ekibiina kyaabwe ne gavumenti

Akulira omukago gw’abasomesa bano Margret Rwabushaija agambye nti bakyagenda mu maaso n’akeediimo kaabwe okutuuka nga bakakasizza nti omusaala gwaabwe gwakukyukako

Mu bitundu ebitali bimu, embeera ya kimpowooze ng’abayizi basiibye bazannya.

Twogeddeko n’abayizi ba Kololo High school ng’okusaba kwaabwe kuli nti abasomesa bakomewo mu bibiina.

Ate mu bitundu ebirala, e Sembabule, amasomero mangi gasiibye maggale

Ku ssomero lya St Andrew Mateete ne Katimba pulayimale , abayizi basindikiddwa ewaka oluvanyuma lw’abasomesa obutalabikako

Atwala essomero lya St. Andrew Mitete  Mathew Kayizi agambye nti balina abasomesa 16 kyokka nga ku bonna teri alabiseeko

Wabula ate amasomero mu kibuga kye Masaka ne Kalangala gasigadde gasomesa

E Buwama, abayizi baweze okwegatta ku basomesa baabwe ssinga akeediimo katuuka olunaku lw’enkya

E Lwengo ku Basomesa 1403 beebalina mu disitulikiti, 300 beebalinnye ku masomero ate nga nabo tebasomesa

Ate e Soroti embeera teyawukanye ku yajjo

Atwala ebyenjigiriza mu disitulikiti alabye biri bityo n’ayita olukiiko lw’abakulira amasomero n’ekigendererwa ky’okubakkakkanya kyokka nga byonna kusiiwa nsaano ku mazzi