Amawulire

Abasomesa baweze- teri kudda mu bibiina

Ali Mivule

May 16th, 2015

No comments

teachers call off strike

Abasomesa baweze obutalinya mu bibiina newankubadde nga minisitule y’ebyenjigiriza ebalagidde beyanjula mu bibiina ku balaza ya weeki ejja awatali kwekwesa nsonga yonna.

Abasomesa ne minisitule y’ebyenjigiriza basika omuguwa ku misaala gyebagaala gyongezebwe n’ebitundu 10 ku kikumi kko n’ensimbi zaabwe ez’okwekulakulanya ezabaweebwa pulezidenti Museveni.

Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teachers union Margret Rwabushaija agambye nti kyebakola kiri mu mateeka kubanga baawa minisitule ennaku 90 okukola ku nsonga zabwe naye nga butereere.

Rwabushaija agambye nti n’amateeka agafuga eggwanga gabawa ebbeetu ng’abakozi abegattira mu bibiina okussa wansi ebikola singa baba banyigirizibwa.

Ate bbo abasomesa mu disitulikiti Mbarara basazeewo okwegatta ku keediimo akalangiriddwa ekibiina ky’omukago gwaabwe.

Mu lukiiko lw’ebatuuzizza olunaku lwalero, abasomesa bagambye nti nabo embeera ebanyiga era tebagenda kutiisibwatiisibwa.

Abakulira David Muwanguzi asabye abasomesa obutageza kulinnya mu bibiina

Ate e Kamuli abakulira eby’enjigiriza mu disitukiti eno baweze okukangavvula abasomesa abaneetaba mu kwekalakaasa.

Bbyo nno ebibiina by’abakozi byegasse ku basomesa nga bigamba keekadde gavumenti etuukirize obweyamo.

Akulira omukago gwa NOTU, Usher Wilson Owere agamba nti abasomesa baludde nga bajjukiza gavumenti ku nsonga zaabwe naye nga tefaayo

Ono era asabye gavumenti okukomya okutiisatiisa abasomesa nti bakugobwa ku mirimu wabula etuule nabo ensonga yaabwe ekolebweeko