Amawulire
Abasomesa beediimye- teri kusomesa- abayizi bazannya
Akediimo k’abasomesa kasanyalazza ebyensoma naddala wano mu kampala.
Abayizi bali wabweru bakonkomadde nebyabatumwa nga olusoma luggulawo awatali basomesa babafaako.
Ebibiina ebisinga bikalu nga era n’abasomea abamu bakyali mu mayumba gaabwe ebyokusomesa ssibyebaliko.
Omusasi waffe Herbert Zziwa atuuseko mu massomero ag’enjawulo okuli Old Kampala Primary school, Bat Valley ne Mengo nga abayizi bali bweru bezanyira.
Gyebuvuddeko Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa bano mu ggwanga Margret Rwabushaija y’ategezezza nga bwebasaanye okwediima okumalamu gavumenti ejjoogo kubanga baajiwa ennaku 90 okukola ku nsonga zaabwe wabula nga tebarabawo kale nga kyekiseera nabo okugikuba awaluma.
Ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda naye y’abadde asabye abasomesa bade mu bibiina mu lusoma luno obutataganya byansoma nga bwebizze bisengekebwa.