Amawulire

SSabassajja agenda Kyaggwe

Ali Mivule

May 16th, 2015

No comments

SSabassaja on the throne new

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 2 wakulabikako eri obuganda ng’ennaku z’omwezi 30 ku nkomerero y’omwezi guno mu Ssaza lye Kyaggwe.

Ssabasajja agenda  kutongoza olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu, olugenda okutandika okukuzibwa buli mwaka.

Essaza lye Kyaggwe lyeryasinga okukola obulungi mu masaza gonna omutanda n’asiima litegeke emikolo.

Enteekateeka ziri mu jjiya nene nga n’enkiiko zigenda maaso okutegeka omukolo guno.

Mu lukiiko olutudde ku mbuga ye Ssaza mu Gulu e Mukono nga lukubirizibwa minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu bwakabaka bwa Buganda owekitiibwa Joseph Kawuki, kitegerekese nti era Ssabassajja wakutongoza okulamba amasaza g’obwakabaka ssaako olusiisira lw’amateeka olunaasokawo.

Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo ayanirizza omukolo guno ogw’okulamba amasaza nti kigenda kuyamba nnyo okumalawo enkayaana mu masaza agenjawulo.

Bino webigyidde nga waliwo enkaayana wakati disitulikiti ye Wakiso ne Mukono ku wa ensalo weziyita wali mu Namanve.