Amawulire

Eyali pulezidenti asaliddwa kalabba

Ali Mivule

May 16th, 2015

No comments

Mursi to hang

Eyali omukulembeze wa misiri Mohamed Morsi asaliddwa ekibonerezo kya kuwandikibwa ku kalabba.

Kiddiridde ono okusingisibwa emisango gy’okumenya ekkomera okutolosa abantu bonna abaali bakwatiddwa nga beekalakaasa okuvuunika gavumenti ya Hosni Mubarak.

Kati ebisaliddwaawo abalamuzi byakusindikibwa eri bannadiini abakulemberwa mufuti okusalawo oba attibwa oba nedda

Wabula ono asobola okujulira yadde bannaddiini baba bakkirizza attibwe

Morsi yamamulwa ku ntebe mu mwaka 2013 abeekalakaasiz abeeyiwa ku nguudo

Okuva olwo ekibiina kye ekya Brotherhood kyalangirirwa nti kiriwo mu bumenyi bw’amateeka era nga kyawerwa

N’abawagizi be bangi basaliddwa akalabba n’amayisa mu bangi kyebayita ey’obufuzi n’okutuntuza abavuganya.