Amawulire

abalamazi bakyatambula

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

martyrs

Abakulisitu wano mu Kampala bakyasaba essaala nga bwebatambulira mu kkubo omwayita abajulizi nga bagenda okutibwa ssekabaka Mwanga mu kyaasa ekya 19.

Olunaku olw’eggulo bano baatambudde okuva e Munyonyo ewatibwa  Andrew Kaggwa ne  Donozio Ssebugwawo , nebagenda e Kyamula ewatibwa   Kyamula ne  Ponsiano Ngondwe nebagenda  mu katale ka Owino eatibwa Balikudembe nga era baamalidde ku keleziya ya St Matia Mulumba ku old Kampala ewatibwa Matia Mulumba nga era ekiro kyonna baasuze basaba.

Akulira ekigo ky’abajulizi e Namugongo Father Joseph Mukasa Muwonge agambna olwaleero baakuva ku Old Kampala  bagende e Lubawo ewatibwa Gonzaga Gonza olwo bade e Namugongo.

Agamba baakutegeka ekitambiro ky’emisa okuva ku ssawa 11 ezakawungeezi nga era kyakukulemberwamu kalidinaali Emmanuel Nsubuga.