Amawulire

Abakukusa bakyusizza enkuba

Ali Mivule

May 27th, 2015

No comments

 

Poliisi eyanise enkubya empya abakukusa gyebazze nayo.

oluvanyuma lw’okubatayiza wano mu ggwanga bano kati bakozesa ggwanga lya Kenya nga era kati buli lunaku bannayuganda kumpi 10 bakukusibwa nga babayisa eyo.

Omukwanaganya w’akakiiko akateekebwawo okulwanyisa okukukusa abantu mu minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga  Moses Binoga agamba bebakukusa befuula abagenze e Kenya okukyalira ku b’enganda zaabwe nebayitamu buyisi okwolekera amawanga amalala.

Binoga agamba kati bakwataganye n’bobuyinza mu ggwanga  lya Kenya ne South Sudan okulaba nga bateekawo ofiisi enakwanaganya omulimu gw’okulwanyisa okukukusa abantu.

Agamba olunaku lw’eggulo waliwo abasomesa 55 abaakomezeddwawo bwebabadde bakukusibwa okutwalibwa mu ggwanga lya South Sudan.