Amawulire

Namugongo awuuma

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

NAMUGONGO FILLED

Poliisi efulumizza amateeka agalina okugobererwa abagenda okulamaga ku kiggwa ky’abajulizi enamugongo ku lwokusatu lwa wiiki eno.

Emmotoka ssizakukkirizibwa kutuuka ku biggwa byonna  okugyako ez’abakungu ezinaaba zitimbiddwako sitiika .

Abakungu abagenda ku kiggwa ky’abakatuliki baakuyita Kyaliwajjala  basimbe ku kisaawe ky’essomero ssomero lya  Namugongo Primary School  sso nga abagenda ku kiggwa ky’abakulisitaayo bakuyita Bweyogerere ne  Seeta.

Emmotoka z’obwanaanyini ,Taxis n’aba pikipiki ssibakkukkirizibwa kusukka tawuni ye Kireka nga ate abalamazi bonna abanakozesa baasi baakutekebwa wali e Kayliwajjala olwo baasi zoolekere e Namboole nga ziyita e Nalya gyezigenda okusimba.

Abalamazi abanakozesa oluguudo lwa Norther Bypass okuva e Ntinda, Hoima Road ne Bwaise baakusimba ku ssomero lya St. Peter’s S.S and Hill Side Nursery and Primary School.

Abanayite mu Kira Town Council baakusimba ku ssomero lya  Green Hill Academy nemukibangirizi kya Kira Town Council grounds.

Bbo abalamazi abanakozesa amakubo mu buvanjuba agabasuula e Kireka ne Bweyogerere baakusimba ku kisawwe ky’e Nmaboole nga paakingi y’abagenda ku kiggwa ky’abakulisitaayo yakubeera ku Church Farm.

Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr. Steven Kasiima agamba ekkubo wakati wa  Kyaliwajjala- okugenda ku kiggwa ky’abakatuliki okutuuka ku kiggwa ky’abakulisitaayo wakutambuzaawo bigere byokka.

Kasiima akubirizza abagenda e Namugongo bonna okugondera amateeka gano okwewala okutataganyizibwa.

Kyo ekiri e Namugongo kissa kinegula nga abalamazi bakyeyiwa ku biggwa by’abajulizi byonna .

Ku makya wasoosewo okusabira  ekitambiro ky’emmisa okusabira omugenzi  Julius Nyerere nga ono y’eyali omukulembeze w’eggwanga lya Tanzania era amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi y’asuubirwa okubeera omugenyi omukulu.

Nga 1 June  2009 olunaku lwa  Julius Kambarage Nyerere lwatongozebwa era lukuzibwa na kusaba wali ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo.