Amawulire

Abakozi tebannasasulwa misaala

Ali Mivule

June 8th, 2015

No comments

Abakozi ba gavumenti abasoba mu 3000 tebanafuna musaala gyabwe ogw’omwezi oguwedde ate abo abakuzibwe tebanaba kuweebwa nsako yabwe. Kino kibikuddwa akulira aby’abakozi mu kibiina kya Uganda National Teachers Union Filbert Baguma. Baguma agambye nti waliwo abasomesa 2,000 abakola ne KCCA abatanasasulwa musaala, ate ng’abakozi 1000 […]

Aba FDC bayimirizza okulonda e Nakawa

Ali Mivule

June 8th, 2015

No comments

Nga bannakibiina kya FDC betegekera okulonda abakulembeze babwe abokuntikko, nate okusika omuguwo kubaluseewo nadala mu kulonda abakulembeze ku mitendera egyewansi. Wano mu kampala  waliwo abakulembeze okuli n’omubaka omukyala akikirira district eno mu parliament, Nabiilah Nagayi Ssempala, bagamba nti okulonda kuno nadala mu division ye Nakawa […]

Omusajja akubye bbebi embooko n’amutta

Ali Mivule

June 8th, 2015

No comments

  Poliisi e Kagoma Buwenge mu disitulikiti ye Jinja eriko omusajja ow’emyaka 50 gw’ekutte  lwakukuba mwana wa myezi etaana n’amutta Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti omusajja ono omwana yamukubye miggo egyamujje mu budde. Enanga agambye nti akadde kona omusajja ono wakusimbibwa […]

BBa wa Stecia asuze luzira

Ali Mivule

June 8th, 2015

No comments

Bba w’omuyimbi Stecia Mayanja Abdu Mubiru asindikiddwa e Luzira Abdu Mubiru alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddala erisooka ku kkooti ya Buganda road Joan Aciro. Mubiru avunaanibwa kulya obukadde 45 okuva ku musuubuzi amanyiddwa nga Ronald Ddanze ng’alina okumuguza ettaka mu bitundu bye Lubowa kyokka n’atalimuwa […]

Enkuba esse basatu

Ali Mivule

June 6th, 2015

No comments

Enkuba eyamaanyi esse abantu basatu n’abalala 97 nebaweebwa ebitanda mu ddwaliro lye Butalejja Enkuba eno emaze eddakiika nga ttanao zokka kyokka ngerimu omuyaga ogwa maanyi era etukkudde obusolya ng’enyumba ezisoba mu 150 Ezimu ku zikoseddwa kwekuli poliisi ye Busolwe , omuzikiti gwaayo n’essomero erimanyiddwa nga […]

Oluguudo lwa baasi lutandise okulambibwa

Ali Mivule

June 6th, 2015

No comments

Kampala capital city authority olwaleero etandise okulamba oluguudo olunakozesebwa baasi ku luguudo lwa Jinjaroad. Atwala ebyentambula mu KCCA Jacob Byamukama agambye nti baasi zijja kuba zikozesa oluguudo olusemba ku ma siteegi olwo enkalala ebbiri eza wakati zikozesebwe bi loole, aba Taxi, pikipiki, n’emotoka z’obuyonjo Byamukama […]

Poliisi etaasizza omusomesa

Ali Mivule

June 6th, 2015

No comments

Poliisi ekakkanya obujagalalo e Mubende eyitiddwa bukubirire okukakkanya abazadde saako n’abayizi ku somero lya Lwegula P/S ababadde bataamye obugo. Kiddiridde  omusomesa ku ssomero lino okwokya engoye z’abayizi 40 abaali mu kisulo mu lusoma lwa taamu esooka ng’abalanga kwambala leeya Omusomesa ono ategerekese nga Sseresitini Baguma […]

Aba FDC balonze obukiiko

Ali Mivule

June 6th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya FDC mu Kampala olunaku lwaleero batandise okulonda abakulembeze baabwe nga betegekera ttabamiruka w’ekibiina wiiki ejja Omwogezi wa FDC John Kikonyogo agamba nti okulonda okutandikidde ku byaalo kujjumbiddwa. Abo bonna abanaalondebwa beebagenda okwetaba mu kulonda abakulembeze b’ekibiina ab’okuntikko okuli ne ssabawandiisi Abantu abasoba mu […]

Jack Ssabbiiti yefuludde- Ngenda kwesimbawo

Ali Mivule

June 6th, 2015

No comments

Omubaka we Rukiga mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Jack Sabiiti yefudde ate n’ategeeza nga bw’agenda okwesimbawo mu mwaka 2016 yadde yali yasuubiza nti tadda Ssabbiiti agambye nti abesimbyeewo bonna ba NRM nga tasobola kubalekera ntebe Ng’akalulu ka 2011 kakaffwa, Ssabbiiti yalangirira nga bweyali awereeza ekisanja kye […]

Endagamuntu ezisinga zigabiddwa

Ali Mivule

June 5th, 2015

No comments

Abantu obasoba mu bukadde 3 bebakafuna endaga Muntu, okusinzira ku minister omubeezi akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga James Baba. Bwabadde ayogerako eri banamawulire Baba agambye nti bakafulumya card obukadde 10 mu emitwalo 10 wadde ngabakagabako obukadde 3 mu emitwalo 10. Baba wano wasinzidde ngasaba […]