Amawulire

Besigye alabudde abavuganya- bakubacunya

Ali Mivule

June 10th, 2015

No comments

Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye alabudde abalondedwa okukulembera emukago omugya ogwa Democratic Alliance ,nti government egenda kubwa akadde akazibu, era nga basaanye okubeera abulindaala. kinajukirwa nti bano amakya ga leero bakedde kwekolamu mukago gwebatuumye Democratic alliance nga  guno ekigendererwa kyakutwala buyinza mu […]

Misiri esimattuse bbomu

Ali Mivule

June 10th, 2015

No comments

Poliisi e Misiri egamba nti esobodde okulemesa bbomu ebadde etegeddwa mu bimu ku bifo by’obulambuzi mu ggwanga lino. Abasajja basatu ababadde besibye bbomu babadde batuuse ku mulyango kyokka nebabazuula mangu Poliisi bano egezezzaako okubasemberera era omu ku bbo n’akasuka ekisibi kya bbomu ky’abadde yesibye , […]

Ttabamiruka wa FDC- Mafaabi awera

Ali Mivule

June 10th, 2015

No comments

Eyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti Nandala Mafabi asiimuddewo olugambo nti alina olutalo ku mukulembeze w’ekibiina mw’ava Maj Gen Mugisha Muntu Mafaabi ayagala obwa ssabawandiisi w’ekibiina agamba nti okusuulawo emirimu gye kibiina tekaali kakodyo ka kulengezza bukulembeze bwa Muntu nga bangi bwebabyogera Mafaabi agamba nti […]

Abavuganya balangiridde omukago

Ali Mivule

June 10th, 2015

No comments

Ebibiina ebivuganya gavumenti byekozeemu omukago byegutuumye Democratic alliance nga  guno ekigendererwa kyakutwala buyinza mu mwaka 2016. Bano era bakaanyizza okutondawo akakiiko akeetongodde kalonde omuntu omu agenda okuvuganya ku bwa pulezidenti mu mwaka 2016  ne ku mitendera gyonna Okusinziira ku kiwandiiko kyebagenda bonna okusaako emikono, bano […]

Abanywa enjaga bawanikibwe ku kalabba- Emidaali gigabiddwa

Ali Mivule

June 9th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atongozeza ekijukiro ekirala eky’abazira mu gombolola ye Ddwaniro esangibwa mu disitulikiti ye Kiboga. Museveni olumaliriza bino n’ayolekera ku somero lya Katwe primary school emikolo emikulu gyegiri. Mu kaseera kano okugaba emidaali kugenda mu maaso era nga kukulembeddwamu Ssentebe w’akakiiko akagaba […]

Mbabaali bamututte mu kkooti lwa bitabo

Ali Mivule

June 9th, 2015

No comments

Waliwo munnakibiina kya NRM okuva mu disitulikiti  ye Lwengo eyesimbye mu yali omubaka wa Bukoto mu bukiikaddyo,Haji Muyanja Mbabali ng’ayagala agaanibwe okwesimbawo kubanga talina buyigirize bumala Kinajjukirwa nti ne mu mwaka gwa 2011, Mbabali yagaanibwa okwesimbawo lwabutaba na bisanyizo byebimu. Ng’ayita mu bannamateeka be aba […]

Okulonda kwa Burundi kwa mwezi gujja

Ali Mivule

June 9th, 2015

No comments

Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga lya Burundi kataddewo nga 15 omwezi ogujja okulonda omukulembeze w’eggwanga mu ggwanga lino. Kinajukirwa nti abakulembeze b’amawanga ga Africa bazze basaba okulonda kwongezebweyo wakiri okumala weeki 6, kyoka kino tekinasoboka. Okulonda kuno kwalina okubeerawo nga 26 omwezi guno, kati kutereddwa nga […]

Omubaka Toskin afudde

Ali Mivule

June 8th, 2015

No comments

Eyali omubaka wa palamenti akiikirira ekitundu kye Kongasis ekisangibwa e Ssabinyi nga ye Bartile Jackson Toskin afudde Ono yafiiridde mu kabenje e Iganga dereeva we bweyayingiridde ki tuleera Mukyala we Mary Toskin naye yakoseddwa ng’awereddwa ekitanda e Mulago Mutabani we Edward Toskin agambye nti dereeva […]

Abatega bbomu bakomyeewo mu kkooti

Ali Mivule

June 8th, 2015

No comments

Eby’okwerinda binywezeddwa ku kkooti ng’okuwozesa abagambibwa okutega bbomu ezatta bannayuganda abasoba mu nsanvu kugenda mu maaso. Asoose mu kaguli ye Mahmood Mugisha eyakkiriza nti mu butuufu yayambanga aba Alshabaab okusendasenda abavubuka okubegattako era nga ne bbomu zenyini yazimanyaako nti zakutegebwa Omusango guno gwaali gayimiriramu oluvanyuma […]

Nambooze afunye akabenje

Ali Mivule

June 8th, 2015

No comments

Omubaka Betty Nambooze asumattuse akabenje enkya ya leero bw’abadde ava okutwala abaana be ku ssomero Ono atwaliddwa ku ddwaliro lye Mukono abasawo gyebamwekebejjeredde n’oluvanyuma n’adda ewaka   Omuyambi we Robert Namugera atugambye nti ono tafunye biwundu bya maanyi kyokka ng’alumizibwa mu kifuba Ono emotoka ye […]