Amawulire

Kabaka awabudde ku kulonda

Ali Mivule

May 30th, 2015

No comments

Kabaka asiimye

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri asabye  abavunanyizibwa ku kuteekateeka okulonda kwa 2016, okuwuliriza wamu n’okuteeka mu nkola ebirowoozo by’abantu.

Omutanda okwogera bino abadde ku mbuga y’essaza lye Kyaggwe  bw’abadde atongoza olunaku lwa  gavumenti ez’ebitundu.

Omutanda agambye nti abantu ba Buganda balina okwenyigira obutereevu mu kulonda okutegekeddwa gavumenti.

Ssabasajja era ajjukizza abakulembeze b’ensikirano, wamu n’abakulembeze abalonde obuvunanyizibwa bwabwe okukolera abantu mu mazima n’obwesimbu.

Omutanda agambye nti obulembeze obutalimu mazima busaana okuvumirirwa.

Nyinimu era agambye nti obukulembeze obuwangaala bulina okukkiriza enkyukakyuka  wamu n’okuwabulwa.