Amawulire

Poliisi y’ebibira akubye omuntu essasi, esengudde abalala

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

 

 

Forest

Poliisi mu disitulikiti ye Mpigi eriko abakungu b’ekitongole ky’ebyebira 4 bekutte lwakumala gawandagaza masasi nebalumya omutuuze omu.

Okusinziira ku kunonyereza kwa poliisi okwasoose, abakwata bano baayimirizza biloole 2 byababadde batebereza okwetikka ebikondo n’enku okuva mu bibira ebyaganibwa okutemwamu emiti.

Wabula biloole bino byagaanye okuyimirira olwo abakuumi bano okabadde abajaasi 2 n’omuserikale wa poliisi nebawandagaza amasasi agaakwatiddemu n’omu ku batuuze ekyasanudde abatuuze wabula poliisi neyanguwa okukkakanya embeera .

Aduumira poliisi ye Mpigi Julius Ahimbisibwe ategezezza nga bwebakyanonyereza ku nsonga eno.

 

Mungeri yeemu ab’ekitongole ky’ebyebibira mu ggwanga baliko abatuuze abasoba mu 1000 bebagobye ku ttaka ly’ekibira kya Omyer nga era abagobeddwa bibasobedde nga tebamanyi wakulaga.

Bano okugobwa ku ttaka lino nga kyebaggye bekubire enduulu mu kkooti baleme kugobwa ku ttaka lino wabula kkooti negoba okusaba kwabwe.

Omu ku bagobeddwa  Joyce Acanda agamba kati tebamanyi kyakukolera baana baabwe kubanga n’emmere gyababadde babaliisa yasayiddwa sso nga kwebabadde batunda okufuna ne fiizi zaabwe.

Akuliddemu okutwalaganya abatuuze bano  Jimmy Ouna agamba balina okumenya amayumba gonna olwo abesenza ku ttaka lino baliviireko ddala.