Amawulire

Mbabazi alangiridde okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga

Ali Mivule

June 15th, 2015

No comments

Mbabazi addresses them

Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama  Amama Mbabazi alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo ku bwapulezidenti  avuganye n’eyali mukamawe pulezidenti Museveni omwaka ogujja.

Mu bubaka ku mukutu gwA  youtube, Mbabazi  asabye bannayuganda bonna okuli n’abekibiina kya NRM okumuwagira asiggukulule Museveni.

Mbabazi anokoddeyo ebintun 8 by’agenda okuteeka enyo essira okuli okutumbla enkulakulana eyomuggundu, okutonderawo bannayuganda emirimu okulwanyisa obuli bw’enguzi n’ebirala.

Agamba wakuvaayo n’enteekateeka endala ku biseera bya Uganda ebyomumaaso nga era okusoomozebwa kwonna okuli mu ggwanga kulina ekyokuddibibwamu.

 

Poliisi etegezezza nga bw’efunye amawulire nti waliwo ekibinja ekiwagira Mbabazi akirina ekigendererwa ky’okwekalakaasa wano mu Kampala, n’ebibuga ebinene wano mu ggwanga.

Okusinziira ku mukutu gwa poliisi ogwa face book omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga ategezezza nti bano tebanasaba lukusa kuva eri poliisi nga bwekilambikiddwa mu mateeka agalungamya ku by’enkungaana.

Enanga alabudde buli anetaba mu kwekalakaasa kuno nti wakukwatibwa avunanibwe nga amateeka bwegalagira.

Wabula agamba bbo nga poliisi tebaliiwo kulinyirira dembe lyamunnayuganda ayagala okweyogerera kasita agoberera amateeka.