Amawulire

Mafaabi ayeze obululu okufuuka ssabawandiisi

Ali Mivule

June 13th, 2015

No comments

Mafaabi 2 new

Omubaka wa Budaadiri  mu bugwanjuba  Nathan Nandala Mafabi kati ye Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC omuggya.

Mafaabi yalondeddwa mu kiro ekikeezesa olunaku lwalero era ng’afunye obululu 809 ate Kasiano Wandri n’afuna obululu 161 olwo  Nabilah Nagayi Ssempala eyawanduse mu lwokaano n’afunye obululu 9.

Wasswa Biriggwa kati ye Ssentebe w’ekibiina kya FDC oluvanyuma lw’okufuna obululu  434  ate ye Bwanika Bbaale okuva e Luweero nafuna obululu 100.

Ye omubaka wa Kyadondo East Ibrahim Ssemuju Nganda kati y’emwogezi w’ekibiina oluvanyuma lw’okuwangula Sarah Epenu ne John Kikonyogo.

Ye abadde akulira abakyala mu kibiina kino Ingrid Tulinawe  kati ye Ssabakunzi w’ekibiina oluvanyuma lw’okufuna obululu 492, Kaps Fungaro 113  Anita Among 162 ate Ibrahim Kasozi nafuna obululu 101.

Ye Geoffrey Ekanya kati ye Muwanika w’ekibiina, Alice alaso ye mu myuka wa President w’ekibiina mu buvanjuba , Reagan Okumu y’amyuka pulezidenti mu bukiikaddyo, Nabbosa Ssebugwawo mu masekkati.