Amawulire

Mbabazi waddembe okwebuuza ku bantu- Gavumenti

Mbabazi waddembe okwebuuza ku bantu- Gavumenti

Ali Mivule

June 19th, 2015

No comments

 

Ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi agamba eyali ssabaminisita Amama Mbabazi waddembe okwebuuza ku bantu kubanga ssemateeka akikkiriza Kino kizze mga Mbabazi yakafulumya enteekateeka ze ez’okutambula Mbabazi smiles 2eggwanga lyonna nga yebuuza ku bantu ku nteekateeka ye ey’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Ono era yawandiikidde n’akakiiko akalondesa  kko ne poliisi ku nteekateeka ze Wabula Ruhindi agamba nti Mbabazi alina kusooka kufuna lukusa lwa kibiina mw’agenda okuyita okwesimbawo. Mbabazi wakutandika okutalaaga eggwanga okuva nga Mwenda omwezi ogujja era nga wakusookera Mbale, Soroti ne Moroto.