Amawulire

Abaana abaweza obukadde bubiri bali mu bufumbo

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

child washing utensils

Abaana abali mu bukadde bubiri beebakakibwa okufumbirwa nga tebannatuuka buli mwaka mu Uganda.

Bino biri mu alipoota ekoleddwa ekibiina kya UNICEF.

Alipoota eraga nti Uganda yeemu ku mawanga agalimu abaana abafumbirwa nga bato mu nsi yonna era ng’ekwata kya 15.

Kati abaana abaweza ebitundu 46 ku buli kikumi mu Uganda beebali mu bufumbo nga bato nga omuwendo guno guli waggulu nnyo bw’atunuulira amawanga amalala.

Akulira ekibiina kya Empower a child Benon Katumwa agamba nti waliwo obwetaavu bw’okusitukiramu okulwanyisa ekizibu kino ekyeyongera buli lukya are nga kikosa ebyenjigiriza by’abaana, ebyobulamu n’embeera zaabwe

Katumwa agamba nti olutalo luno lulekeddwa gavumenti ng’ate nne kale nga buli omu alina okusitukiramu

Kino kizze nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’omwana wa Afrika